|
| 1 |
|
| Nze ndi muntu oyo eyalaba ennaku olw'omuggo ogw'obusungu bwe. |
|
| 2 |
|
| Yantwala n'antambuliza mu kizikiza so si mu musana. |
|
| 3 |
|
| Mazima tata kundeetako mukono gwe okuzibya obudde. |
|
| 4 |
|
| Omubiri gwange n'eddiba lyange abikadiyizza; amenye amagumba gange. |
|
| 5 |
|
| Anzimbiddeko n'anneetoolooza omususa n'okulumwa. |
|
| 6 |
|
| Antuuzizza mu bifo eby'ekizikiza ng'abo abaafa edda. |
|
| 7 |
|
| Ankomedde n'okuyinza ne siyinza kufuluma; azitoyezza olujegere lwange. |
|
| 8 |
|
| Weewaawo, bwe nkaaba ne nkuba enduulu okubeerwa, aggalira okusaba kwange. |
|
| 9 |
|
| Akomedde amakubo gange n'amayinja amateme, akyamizza empitiro zange. |
|
| 10 |
|
| Ali gye ndi ng'eddubu eteega, ng'empologoma eri mu bifo eby'ekyama. |
|
| 11 |
|
| Akyamizza olugendo lwange, n'antaagulataagula; ansamaalirizza. |
|
| 12 |
|
| Anaanudde omutego gwe, n'anteekawo okuba sabbaawa w'akasaale. |
|
| 13 |
|
| Ayingizizza mu mmeeme yange ebiri mu mufuko gwe. |
|
| 14 |
|
| Nfuuse eky'okusekererwa eri abantu bange bonna; n'oluyimba lwabwe okuzibya obudde. |
|
| 15 |
|
| Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza abusinso, |
|
| 16 |
|
| Era amenye amannyo gange n'oluyinjayinja, ambisseeko evvu. |
|
| 17 |
|
| Era wayawula emmeeme yange okuba ewala n'emirembe; nneerabira omukisa bwe gufaanana. |
|
| 18 |
|
| Ne njogera nti Amaanyi gabuze, n'okusuubira kwange okuva eri Mukama. |
|
| 19 |
|
| Jjukira ennaku zange n'obuyinike bwange, abusinso n'omususa. |
|
| 20 |
|
| Emmeeme yange ekyabijjukira, era ekutamye mu nda yange. |
|
| 21 |
|
| Nkijjukira ekyo, kyenvudde mbeera n'okusuubira. |
|
| 22 |
|
| Kwe kusaasira kwa Mukama ffe obutamalwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. |
|
| 23 |
|
| Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi. |
|
| 24 |
|
| Mukama gwe mugabo gwange, emmeeme yange bw'eyogera; kyennaava mmusuubira. |
|
| 25 |
|
| Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya. |
|
| 26 |
|
| Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'ateredde. |
|
| 27 |
|
| Kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe. |
|
| 28 |
|
| Atuule yekka asirike, kubanga akimutaddeko. |
|
| 29 |
|
| Ateeke akamwa ke mu nfuufu oba nga mpozzi wanaabaawo okusuubira. |
|
| 30 |
|
| Awe ettama lye eri oyo amukuba; akkute okuvumibwa. |
|
| 31 |
|
| Kubanga Mukama talisuula ennaku zonna. |
|
| 32 |
|
| Kuba newakubadde ng'aleeta obuyinike, naye alikwatibwa ekisa ng'olufulube lw'okusaasira kwe bwe luli. |
|
| 33 |
|
| Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okuluma abaana b'abantu. |
|
| 34 |
|
| Okulinnyirira n'ekigere abasibe bonna ab'omu nsi, |
|
| 35 |
|
| Okukyamya ensonga y'omuntu mu maaso g'oyo ali waggulu ennyo, |
|
| 36 |
|
| N'okulya ensonga, ebyo Mukama tabisiima. |
|
| 37 |
|
| Ani oyo ayogera ne kituukirira, Mukama nga takiragidde? |
|
| 38 |
|
| Mu kamwa k'oyo ali waggulu ennyo temuvaamu ebibi n'ebirungi? |
|
| 39 |
|
| Omuntu omulamu yeemulugunyiza ki, omuntu olw'okubonerezebwa olw'ebibi bye? |
|
| 40 |
|
| Tukebere tukeme emitima gyaffe, tukyukire nate eri Mukama. |
|
| 41 |
|
| Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'engalo zaffe eri Katonda mu gulu. |
|
| 42 |
|
| Tusobezza era tujeemye; tosonyiye. |
|
| 43 |
|
| Otubisseeko obusungu, n'otuyigganya; osse so tosaasidde. |
|
| 44 |
|
| Weebisseeko ekire, okusaba kwafe kuleme okugguka okutuukayo. |
|
| 45 |
|
| Otufudde ng'empitambi n'ebisasiro wakati mu mawanga. |
|
| 46 |
|
| Abalabe baffe bonna batwasamidde nnyo akamwa kaabwe. |
|
| 47 |
|
| Entiisa n'obunnya bitutuuseeko, okunyagibwa n'okuzikirira. |
|
| 48 |
|
| Eriiso lyange likulukuta emigga egy'amazzi olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange. |
|
| 49 |
|
| Eriiso lyange litonnya, terirekaayo, terita n'akatono, |
|
| 50 |
|
| Okutuusa Mukama lw'anaatunula wansi n'alaba ng'ayima mu ggulu. |
|
| 51 |
|
| Eriiso lyange linakuwaza emmeeme yange olw'abawala bonna ab'ekibuga kyange. |
|
| 52 |
|
| Bancoccedde ddala nnyo ng'ennyonyi, ababa abalabe bange awatali nsonga. |
|
| 53 |
|
| Bamazeewo obulamu bwange mu nju ey'obunnya, era bansuddeko ejjinja. |
|
| 54 |
|
| Amazzi gaakulukuta ku mutwe gwange; ne njogera nti Mmaliddwawo. |
|
| 55 |
|
| Nakaabira erinnya lyo, ai Mukama, nga nnyima mu nju ey'obunnya eya wansi ennyo. |
|
| 56 |
|
| N'owulira eddoboozi lyange; tokisa kutu kwo kussa mukka kwange, okukaaba kwange. |
|
| 57 |
|
| Wasembera ku lunaku kwe nnakukaabirira: n'oyogera nti Totya. |
|
| 58 |
|
| Ai Mukama, wawoza ensonga ez'emmeeme yange; wanunula obulamu bwange. |
|
| 59 |
|
| Ai Mukama, olabye okujoogebwa kwange; nsalira omusango. |
|
| 60 |
|
| Olabye eggwanga lyonna lye bawalana, n'enkwe zonna ze bansalira. |
|
| 61 |
|
| Owulidde okuvuma kwabwe, ai Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira; |
|
| 62 |
|
| Emimwa gy'abo abangolokokerako n'ebyo bye bandowoolezaako okuzibya obudde. |
|
| 63 |
|
| Tunuulira okutuula kwabwe n'okuyimuka kwabwe; nze ndi luyimba lwabwe, |
|
| 64 |
|
| Olibasasula empeera, ai Mukama, ng'omulimu bwe guli ogw'emikono gyabwe. |
|
| 65 |
|
| Olibawa omutima ogukakanyadde, ekikolimo kyo eri bo. |
|
| 66 |
|
| Olibayigganya n'obusungu, n'obazikiriza okuva wansi w'eggulu lya Mukama. |
|
|
|
|