|
| 1 |
|
| Ndi muntu eyabonaabona olw'okubonerezebwa Mukama. |
|
| 2 |
|
| Yantambuliza mu kizikiza, omutali katangaala. |
|
| 3 |
|
| Tata kumbonereza olunaku lwonna. |
|
| 4 |
|
| Ankaddiyizza omubiri n'olususu, ammenyeemenye amagumba. |
|
| 5 |
|
| Ansibidde mu kkomera, omuli obuyinike n'obulumi. |
|
| 6 |
|
| Antadde mu kizikiza ng'abo abaafa edda. |
|
| 7 |
|
| Antaddeko olukomera sirina bwe ntoloka. Ansibye ku lujegere olunene. |
|
| 8 |
|
| Ne bwe neekubira ku nduulu okumusaba annyambe, bye nsaba abiziimuula. |
|
| 9 |
|
| Akomedde amakubo gange ng'agazimbamu ebisenge eby'amayinja amaase. |
|
| 10 |
|
| Anfuukidde eddubu eteega, anfubutukidde ng'empologoma. |
|
| 11 |
|
| Angobye n'ankwatira ku mabbali g'ekkubo. Antaaguddetaagudde n'andeka awo! |
|
| 12 |
|
| Anaanudde omutego gwe n'andeegamu akasaale ke. |
|
| 13 |
|
| Afumise obusaale bwe mu mubiri gwange. |
|
| 14 |
|
| Abantu bonna bansekerera, era bannyimba olunaku lwonna. |
|
| 15 |
|
| Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza ebikaawa. |
|
| 16 |
|
| Ammekesezza oluyinjayinja, anjiye evvu mu maaso. |
|
| 17 |
|
| Mbuliddwako emirembe, neerabidde essanyu bwe lifaanana. |
|
| 18 |
|
| Awo ne ŋŋamba nti: “Nzigweddemu amaanyi, n'essuubi mu Mukama libuze! |
|
| 19 |
|
| “Okulowooza ku bulumi ne ku kubungeeta, binkaayirira ng'omususa. |
|
| 20 |
|
| Era mbirowoozaako lunye ne sirema kwennyamira. |
|
| 21 |
|
| Naye ate nziramu essuubi, bwe nzijukira kino nti |
|
| 22 |
|
| olw'okusaasirwa Mukama tetusaanyizibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. |
|
| 23 |
|
| Kibeera kiggya buli nkya. Kigumu nnyo kyesigika. |
|
| 24 |
|
| Mukama bwe bugagga bwange Kyenva nsuubira mu ye. |
|
| 25 |
|
| “Mukama mulungi eri buli amwesiga. |
|
| 26 |
|
| Kirungi omuntu agumiikirizenga asuubire era alindirire Mukama okumulokola. |
|
| 27 |
|
| Era kirungi omuntu okuva obuto ng'ayize obugumiikiriza. |
|
| 28 |
|
| “Omuntu ng'abonaabona kirungi atuuleko yekka asirike, |
|
| 29 |
|
| agonde yeetoowaze, wandiba nga wakyaliwo essuubi. |
|
| 30 |
|
| Ne bw'avumwa n'akubibwa, abigumira byonna. |
|
| 31 |
|
| “Mukama ajjudde ekisa tatusuulirira lubeerera. |
|
| 32 |
|
| Newaakubadde atuleetera okunakuwala naye atukwatirwa ekisa, kubanga okwagala kwe kungi. |
|
| 33 |
|
| Ky'agenderera si kulumya na kubonyaabonya bantu. |
|
| 34 |
|
| “Okulinnyirira abasibe mu makomera gonna, |
|
| 35 |
|
| abantu okummibwa ebyabwe ebyabaweebwa Omutonzi, |
|
| 36 |
|
| n'okusaliriza mu misango, ebyo Mukama tabisiima. |
|
| 37 |
|
| “Ani aliko ky'atuukiriza Mukama nga takkirizza? |
|
| 38 |
|
| Ka kibe kirungi oba kibi, Lugaba amala kukkiriza. |
|
| 39 |
|
| Omuntu akyali omulamu, yeemulugunyiza ki bw'abonerezebwa olw'ebibi bye? |
|
| 40 |
|
| “Twekebere tulabe empisa zaffe, tukyuke tudde eri Mukama. |
|
| 41 |
|
| Tuyimuse emitima n'emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu tugambe nti: |
|
| 42 |
|
| ‘Tukoze ebibi era tujeemye, era ggwe totusonyiye.’ |
|
| 43 |
|
| “Otusibidde obusungu n'otuyigganya, n'otutta nga tosaasira. |
|
| 44 |
|
| Weebisseeko ekire, okusaba kwaffe kuleme kukutuukako. |
|
| 45 |
|
| Otufudde ntuumu ya busa na bisasiro mu bantu bonna ku nsi. |
|
| 46 |
|
| “Tunyoomebwa ne tuvumibwa abalabe baffe bonna. |
|
| 47 |
|
| Entiisa n'okunyagibwa bitutuuseeko tuli mu kabi ka kuzikirira. |
|
| 48 |
|
| Amaaso gange gakulukusa emigga gy'amaziga olw'okuzikirizibwa kw'abantu bange. |
|
| 49 |
|
| “Amaziga gange ganaakulukuta mu ngezi etakalira, |
|
| 50 |
|
| okutuusa Mukama mu ggulu lw'anaatunulako wansi n'atulaba. |
|
| 51 |
|
| Omutima gwange gwennyamira olw'ebyo ebituuse ku bantu ab'omu kibuga kyaffe. |
|
| 52 |
|
| “Abalabe bange banjizze ng'abayigga ekinyonyi, awatali kye bannanga. |
|
| 53 |
|
| Bankutte ndi mulamu, ne bansuula mu bunnya, ne basaanikirako ejjinja. |
|
| 54 |
|
| Amazzi gaakulukuta, nga gayita ku mutwe gwange ne ŋŋamba nti: ‘Nfudde biwedde!’ |
|
| 55 |
|
| “Nakukoowoola, ayi Mukama, nga nsinziira ku ntobo y'obunnya. |
|
| 56 |
|
| Nasaba owulire bwe nkaaba, era n'owulira. |
|
| 57 |
|
| Wanziramu n'oŋŋamba nti: ‘Totya!’ |
|
| 58 |
|
| “Wanziruukirira, ayi Mukama, n'owonya obulamu bwange. |
|
| 59 |
|
| Nsalira omusango nsinge, olabye okujoogebwa kwange. |
|
| 60 |
|
| Olabye bwe bampalana, n'enkwe zonna ze bansalira. |
|
| 61 |
|
| “Owulidde bwe banvuma, ayi Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira. |
|
| 62 |
|
| Banjogerako olunaku lwonna, ne banteesaako. |
|
| 63 |
|
| Laba, bannyimba nga banjeeyereza buli we babeera. |
|
| 64 |
|
| “Ayi Mukama, babonereze, olw'ebyo bye bakoze. |
|
| 65 |
|
| Bakolimire, obakakanyaze emitima. |
|
| 66 |
|
| Bayigganye, ayi Mukama, obasaanyeewo wansi w'eggulu lyo.” |
|
|
|
|