|
| 1 |
|
| Nze muntu eyalaba ennaku olw'omuggo gw'obusungu bwe. |
|
| 2 |
|
| Angobye n'antwala mu nzikiza, si mu kitangaala; |
|
| 3 |
|
| mazima ankyusirizza omukono gwe emirundi n'emirundi olunaku lwonna. |
|
| 4 |
|
| Olususu lwange n'ennyama abikozzezza, amagumba gange agabwebwetudde. |
|
| 5 |
|
| Anzingizza n'anneetoolooza n'obukaawu n'ebizibu. |
|
| 6 |
|
| Antadde mu nzikiza mbeere omwo ng'abafu abaafa edda. |
|
| 7 |
|
| Anzimbyeko olugo sisobola kutoloka; enjegere zange azongedde obuzito. |
|
| 8 |
|
| Ne bwe ndeekaana ne mpanjaga essaala zange azizibiikiriza. |
|
| 9 |
|
| Amakubo gange agazibye n'agayinja amabajje, obukubo bwange abunyoddenyodde. |
|
| 10 |
|
| Ambeeredde ng'eddubu eriteeze, ng'empologoma mu bukukumo. |
|
| 11 |
|
| Ampugudde mu makubo gange n'antaagulataagula, andese ttayo. |
|
| 12 |
|
| Awese omusaale gwe n'anzisaawo ng'entomo y'obusaale bwe. |
|
| 13 |
|
| Alasizza mu mutima gwange obusaale bw'omufuko gwe. |
|
| 14 |
|
| Nfuuse eky'okusekererwa mu bantu bange, era oluyimba lwe bayeeya olunaku lwonna. |
|
| 15 |
|
| Anzijuzizza n'obukaawu, antamiizizza n'omususa. |
|
| 16 |
|
| Amannyo gange agamenyedde ku nkokoto, antoowazizza mu vvu. |
|
| 17 |
|
| Anzigyeeko eddembe, neerabidde n'ekiyitibwa essanyu. |
|
| 18 |
|
| Kyenva ŋŋamba nti: “Ettendo lyange lizaamye, n'essuubi lyange mu Mukama.” |
|
| 19 |
|
| Jjukira obunaku bwange n'okubungabunga, obukaawu n'endulwe. |
|
| 20 |
|
| Omutima gwange gukirowoozaako butamala, omwoyo gwange gunnebbise. |
|
| 21 |
|
| Naye bino bye nzijukira, bwe ntyo ne nfuna essuubi: |
|
| 22 |
|
| Olw'ekisa ky'Omukama tetuggweekerera, obusaasizi bwe tebukoma. |
|
| 23 |
|
| Buli makya bidda buggya; “Oli mwesigwa nnyo!” |
|
| 24 |
|
| ŋŋamba nti: “Omukama gwe mugabo gwange; kyennaava mmulindirira.” |
|
| 25 |
|
| Omukama mulungi eri abo abasuubira mu ye, eri abo abamunoonya. |
|
| 26 |
|
| Kirungi okulindirira mu kasirise okulokola kw'Omukama. |
|
| 27 |
|
| Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo ng'akyali muto. |
|
| 28 |
|
| Atuule yekka mu kasirise, kubanga amuzitoowerezza. |
|
| 29 |
|
| Obwenyi bwe abuziike mu nfuufu, osanga mwe muli essuubi. |
|
| 30 |
|
| Ateerawo ettama oyo amukuba, ajjule ebivumo. |
|
| 31 |
|
| Kubanga Omukama teyeesammula muntu mirembe gyonna. |
|
| 32 |
|
| Newandibadde alabya ennaku, naye asaasira, kubanga ekisa kye kiyitirivu obungi. |
|
| 33 |
|
| Kubanga tasanyukira mu kunakuwaza n'okubonyaabonya abaana b'abantu. |
|
| 34 |
|
| Okulinnyirira n'ebigere abasibe bonna mu ggwanga, |
|
| 35 |
|
| okusendera eri eddembe ly'omuntu mu maaso g'Ali Waggulu Ddala, |
|
| 36 |
|
| omuntu obutalamulibwa mu bwenkanya, ebyo Omukama tabiraba? |
|
| 37 |
|
| Ani oyo eyayogera ne kikolebwa Omukama nga si y'alagidde? |
|
| 38 |
|
| Mu kamwa k'Ali Waggulu Ddala si mwe muva ebibi n'ebirungi? |
|
| 39 |
|
| Lwaki omuntu omulamu yandyemulugunyizza, omuntu ng'abonerezeddwa olw'ebibi bye? |
|
| 40 |
|
| Twekenneenye amakubo gaffe, tugeetegereze, tukomewo eri Omukama. |
|
| 41 |
|
| Tusitule emitima n'emikono gyaffe eri Katonda ali mu ggulu, tugambe nti: |
|
| 42 |
|
| “Twasobya ne tujeema, naawe tosonyiye. |
|
| 43 |
|
| “Weebikka obusungu n'otuwondera, n'otusanjaga awatali kusaasira. |
|
| 44 |
|
| Weezingiridde ekire essaala kyeteesobole kuyitamu. |
|
| 45 |
|
| Otufudde bisejja na bisasiro mu mawanga. |
|
| 46 |
|
| “Abalabe baffe bonna batwasamizza akamwa. |
|
| 47 |
|
| Ebitugwiridde ntiisa na kugwa mu bunnya, kuvujagibwa na kusaanyizibwawo. |
|
| 48 |
|
| Amaaso gange gakulukuta emyala gy'amaziga olw'abantu bange okuzikirizibwa.” |
|
| 49 |
|
| Eriiso lyange liyiwa amaziga obutasalako, awatali kuweerako, |
|
| 50 |
|
| okutuusa Omukama mu ggulu lw'anaatunula wansi n'alaba. |
|
| 51 |
|
| Amaaso gange gandeetera okunakuwala, olw'ekigudde ku bawala b'ekibuga kyange bonna. |
|
| 52 |
|
| Banjigganya ng'akanyonyi abo abankyawa awatali nsonga. |
|
| 53 |
|
| Baageza okusaanyaawo obulamu bwange mu kinnya, ne bankasuukirira amayinja. |
|
| 54 |
|
| Amazzi gambikka nzenna omutwe, ne ndowooza nti: “Nfudde!” |
|
| 55 |
|
| “Nakowoola erinnya lyo, ayi Mukama, nga nnyima ku ntobo y'ekinnya. |
|
| 56 |
|
| Wawulira okuwanjaga kwange: ‘Toggala matu go nga mpanjaga onnyambe.’ |
|
| 57 |
|
| Bwe nakukoowoola, wasembera, n'oŋŋamba nti: ‘Totya.’ |
|
| 58 |
|
| “Ayi Mukama, otadde omwoyo ku nsonga yange, owonyezza obulamu bwange. |
|
| 59 |
|
| Ayi Mukama, olabye akabi ke bankola, lamula ensonga yange. |
|
| 60 |
|
| Olabye ekkonda lyabwe bwe lyenkana, byonna bye banneewereddemu. |
|
| 61 |
|
| “Ayi Mukama, owulidde okuvuma kwabwe, byonna bye banneewereddemu: |
|
| 62 |
|
| obwama n'okumuumuunya kw'abansitukiddemu nga bandiko olunaku lwonna. |
|
| 63 |
|
| Laba, babe nga batudde oba nga bayimiridde, nze luyimba lwe bayeeya. |
|
| 64 |
|
| “Ayi Mukama, basasule ng'ogerera ku mikono gyabwe bye gyakola. |
|
| 65 |
|
| Bawe okuguguba mu mutima, n'ebikolimo byo bibabeereko. |
|
| 66 |
|
| Mu busungu bwo bawondere obasaanyeewo wansi w'eggulu lyo, ayi Mukama.” |
|
|
|
|