|
| 1 |
|
| Nze muntu eyakangavvulwa n’omuggo ogw’obusungu bwe. |
|
| 2 |
|
| Angobye mu maaso ge n’antambuliza mu kizikiza, awatali kitangaala; |
|
| 3 |
|
| ddala, omukono gwe gunnwanyisizza emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna. |
|
| 4 |
|
| Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange era amenye n’amagumba gange. |
|
| 5 |
|
| Antaayizza n’anzijuza obulumi n’okubonaabona. |
|
| 6 |
|
| Antadde mu kizikiza ng’abafu abaafa edda. |
|
| 7 |
|
| Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka, ansibye enjegere ezizitowa. |
|
| 8 |
|
| Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe, okusaba kwange akuggalira bweru. |
|
| 9 |
|
| Anteeredde amayinja mu kkubo lyange era akyamizza amakubo gange. |
|
| 10 |
|
| Ng’eddubu bwe liteega, n’empologoma bwe yeekweka |
|
| 11 |
|
| yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula n’andeka awo nga sirina anyamba. |
|
| 12 |
|
| Yanaanuula omutego gwe, n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe. |
|
| 13 |
|
| Yafumita omutima gwange n’obusaale okuva mu mufuko gwe. |
|
| 14 |
|
| Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna, era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde. |
|
| 15 |
|
| Anzijuzza ebikaawa era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe. |
|
| 16 |
|
| Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka; anninnyiridde mu nfuufu. |
|
| 17 |
|
| Emmeeme yange terina mirembe, n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana. |
|
| 18 |
|
| Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze, n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.” |
|
| 19 |
|
| Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange, n’obulumi n’obubalagaze. |
|
| 20 |
|
| Mbijjukira bulungi era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa. |
|
| 21 |
|
| Ebyo byonna mbijjukira, kyenvudde mbeera n’essuubi. |
|
| 22 |
|
| Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. |
|
| 23 |
|
| Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; n’obwesigwa bwo bwa lubeerera. |
|
| 24 |
|
| Njogera mu mutima gwange nti, “ Mukama gwe mugabo gwange, kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.” |
|
| 25 |
|
| Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi, eri oyo amunoonya. |
|
| 26 |
|
| Kirungi omuntu okulindirira obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu. |
|
| 27 |
|
| Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye mu buvubuka bwe. |
|
| 28 |
|
| Atuulenga yekka mu kasirise kubanga Mukama y’akimwambiseemu. |
|
| 29 |
|
| Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi. |
|
| 30 |
|
| Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa, era amalibwe n’okuvumibwa. |
|
| 31 |
|
| Kubanga Mukama taligobera bantu bweru ebbanga lyonna. |
|
| 32 |
|
| Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo. |
|
| 33 |
|
| Tagenderera kuleeta bulumi newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu. |
|
| 34 |
|
| Mukama akkiriziganya n’okulinnyirira abasibe, |
|
| 35 |
|
| n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo, |
|
| 36 |
|
| oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu? |
|
| 37 |
|
| Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira, Mukama nga takiragidde? |
|
| 38 |
|
| Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo, si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza? |
|
| 39 |
|
| Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya, bw’abonerezebwa olw’ebibi bye? |
|
| 40 |
|
| Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze, tudde eri Mukama. |
|
| 41 |
|
| Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu, twogere nti, |
|
| 42 |
|
| “Twayonoona ne tujeema, tokyerabiranga era tonatusonyiwa. |
|
| 43 |
|
| “Ojjudde obusungu n’otugobaganya, n’otutta awatali kutusaasira. |
|
| 44 |
|
| Weebisseeko ekire, waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli. |
|
| 45 |
|
| Otufudde obusa n’ebisasiro mu mawanga. |
|
| 46 |
|
| “Abalabe baffe bonna batwogerako ebigambo ebibi. |
|
| 47 |
|
| Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.” |
|
| 48 |
|
| Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga olw’okuzikirira kw’abantu bange. |
|
| 49 |
|
| Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga awatali kusirika, |
|
| 50 |
|
| okutuusa Mukama lw’alisinzira mu ggulu n’alaba. |
|
| 51 |
|
| Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange, olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange. |
|
| 52 |
|
| Abalabe bange banjigganya olutata ne baba ng’abayigga ennyonyi. |
|
| 53 |
|
| Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya, ne bankasuukirira amayinja; |
|
| 54 |
|
| amazzi gaabikka omutwe gwange, ne ndowooza nti, nsanyeewo. |
|
| 55 |
|
| “Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama, nga ndi mu bunnya wansi ennyo; |
|
| 56 |
|
| wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go eri okukaaba kwange.” |
|
| 57 |
|
| Bwe nakukoowoola wansemberera n’oyogera nti, “Totya!” |
|
| 58 |
|
| Mukama watunula mu nsonga yange, era n’onunula obulamu bwange. |
|
| 59 |
|
| Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola, obasalire omusango nga bwe kibagwanira. |
|
| 60 |
|
| Walaba bwe bampalana, n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira. |
|
| 61 |
|
| Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda, n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira, |
|
| 62 |
|
| obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange bye bantesaako obudde okuziba. |
|
| 63 |
|
| Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe; bannyooma nga bwe bannyimbirira. |
|
| 64 |
|
| Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda, olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe. |
|
| 65 |
|
| Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe, n’ekikolimo kyo kibabeereko. |
|
| 66 |
|
| Obayigganye mu busungu bwo obazikirize ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda. |
|
|
|
|