|
| 1 |
|
| Nze ndi muntu oyo, eyalaba ennaku wansi w'omuggo ogw'obusungu bwe. |
|
| 2 |
|
| Yantwala n'antambuliza mu kizikiza so si mu musana. |
|
| 3 |
|
| Mazima ku nze kwakyusiriza omukono gwe buli kiseera okuzibya obudde. |
|
| 4 |
|
| Omubiri gwange n'olususu lwange abikadiyizza; amenye amagumba gange. |
|
| 5 |
|
| Anzingizizza n'anneetoolooza omususa n'okulumwa. |
|
| 6 |
|
| Antuuzizza mu bifo eby'ekizikiza ng'abo abaafa edda. |
|
| 7 |
|
| Ankomedde olukomera n'okuyinza ne siyinza kufuluma; azitoyeza olujegere lwange. |
|
| 8 |
|
| Weewaawo, ne bwe nkaaba ne nkuba enduulu okubeerwa, aggalira okusaba kwange. |
|
| 9 |
|
| Akomedde amakubo gange, n'amayinja amateme, akyamizza amakubo gange. |
|
| 10 |
|
| Ali gye ndi ng'eddubu eteega, ng'empologoma eri mu bifo eby'ekyama. |
|
| 11 |
|
| Akyamizza olugendo lwange, n'antaagulataagula; andesse awo ttayo. |
|
| 12 |
|
| Anaanudde omutego gwe, n'anteekawo okuba sabbaawa w'akasaale ke. |
|
| 13 |
|
| Ayingizizza mu mmeeme yange obusaale obuli mu mufuko gwe. |
|
| 14 |
|
| Nfuuse eky'okusekererwa eri abantu bange bonna; n'oluyimba lwabwe okuzibya obudde. |
|
| 15 |
|
| Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza ebikaawa. |
|
| 16 |
|
| Aleetedde amannyo gange okumeketa oluyinjayinja, n'okwekulukunya mu vvu. |
|
| 17 |
|
| Era wayawula emmeeme yange okuba ewala n'emirembe; nneerabidde essanyu bwe lifaanana. |
|
| 18 |
|
| Ne njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze, n'okusuubira kwange okuva eri Mukama.” |
|
| 19 |
|
| Jjukira ennaku zange n'obuyinike bwange, abusinso n'omususa! |
|
| 20 |
|
| Emmeeme yange ekyabijjukira, era ekutamye munda yange. |
|
| 21 |
|
| Nkijjukira ekyo, era kyenvudde mbeera n'okusuubira. |
|
| 22 |
|
| Kwe kusaasira kwa Mukama, ffe obutamalwawo, kubanga ekisa kye, tekiggwaawo. |
|
| 23 |
|
| Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi. |
|
| 24 |
|
| “Mukama gwe mugabo gwange,” emmeeme yange bw'eyogera; “bw'entyo nnasuubiriranga mu ye.” |
|
| 25 |
|
| Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya. |
|
| 26 |
|
| Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'agumiikiriza. |
|
| 27 |
|
| Kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe. |
|
| 28 |
|
| Atuule yekka asirike, kubanga abimukwassizza. |
|
| 29 |
|
| Ateeke akamwa ke mu nfuufu oba nga mpozzi wanaabaawo okusuubira. |
|
| 30 |
|
| Aweeyo ettama lye eri oyo amukuba; agumire okuvumibwa. |
|
| 31 |
|
| Kubanga Mukama, talitusuula ennaku zonna. |
|
| 32 |
|
| Kubanga newakubadde ng'aleeta obuyinike, naye alikwatibwa ekisa, ng'obugazi bw'okusaasira kwe okutuukiridde bwe buli. |
|
| 33 |
|
| Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okulumya abaana b'abantu. |
|
| 34 |
|
| Okulinnyirira n'ekigere abasibe bonna ab'omu nsi, |
|
| 35 |
|
| Okukyamya ensonga y'omuntu mu maaso g'oyo ali waggulu ennyo, |
|
| 36 |
|
| N'okusaliriza mu misango, ebyo Mukama tabisiima. |
|
| 37 |
|
| Ani oyo ayogera, era ne kituukirira, okujjako Mukama nga akiragidde? |
|
| 38 |
|
| Mu kamwa k'oyo ali waggulu ennyo, ssi mwe muva ebibi n'ebirungi? |
|
| 39 |
|
| Omuntu omulamu yeemulugunyiza ki, omuntu okubonerezebwa olw'ebibi bye? |
|
| 40 |
|
| Tukebere tukeme emitima gyaffe, tukyukire nate eri Mukama. |
|
| 41 |
|
| Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu, |
|
| 42 |
|
| “Tusobezza, era tujeemye; era naawe tosonyiye.” |
|
| 43 |
|
| “Webisse obusungu, n'otuyigganya; osse so tosaasidde.” |
|
| 44 |
|
| Weebisseeko ekire, okusaba kwaffe kuleme okukutuukako. |
|
| 45 |
|
| Otufudde ng'empitambi, n'ebisasiro wakati mu mawanga. |
|
| 46 |
|
| Abalabe baffe bonna batwasamidde nnyo akamwa kaabwe. |
|
| 47 |
|
| Entiisa, n'obunnya bitutuuseeko, okunyagibwa n'okuzikirira. |
|
| 48 |
|
| Amaaso gange gakulukusa emigga egy'amaziga, olw'okuzikirira kw'abantu bange. |
|
| 49 |
|
| Amaaso gange gatonnya, amaziga gange ganaakulukuta obutalekaayo, tegakalira n'akatono. |
|
| 50 |
|
| Okutuusa Mukama lw'anaatunula wansi n'alaba ng'asinziira mu ggulu. |
|
| 51 |
|
| Amaaso gange gandetera okunakuwala olw'ebyo ebituuse ku bawala bonna ab'ekibuga kyange. |
|
| 52 |
|
| “Bancoccedde ddala nnyo ng'ennyonyi,” abo abafuuka abalabe bange awatali nsonga. |
|
| 53 |
|
| Bankasuka nga ndi mulamu mu bunnya, era bansuddeko amayinja. |
|
| 54 |
|
| Amazzi gaakulukuta, nga gayita ku mutwe gwange; “ne njogera nti, ‘Mmaliddwawo’” |
|
| 55 |
|
| Nnakaabira erinnya lyo, ayi Mukama, nga nsinziira ku ntobo y'obunnya eyo wansi ennyo. |
|
| 56 |
|
| N'owulira eddoboozi lyange; toziba kutu kwo eri okukaaba kwange okw'okuyambibwa. |
|
| 57 |
|
| Wansemberera ku lunaku kwe nnakukaabirirako; n'oyogera nti, Totya. |
|
| 58 |
|
| Ayi Mukama, wawoza ensonga ez'emmeeme yange; wanunula obulamu bwange. |
|
| 59 |
|
| Ayi Mukama, olabye okujoogebwa kwange; nsalira omusango. |
|
| 60 |
|
| Olabye eggwanga lyonna lye bampalanako, n'enkwe zonna ze bansalira. |
|
| 61 |
|
| Owulidde okuvuma kwabwe, ayi Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira; |
|
| 62 |
|
| Emimwa n'ebirowoozo by'abo abaagala okunzita bangigganya okuzibya obudde. |
|
| 63 |
|
| Tunuulira okutuula kwabwe n'okuyimuka kwabwe; nze ndi luyimba lwabwe. |
|
| 64 |
|
| Olibasasula empeera, ayi Mukama, ng'omulimu bwe guli ogw'emikono gyabwe. |
|
| 65 |
|
| Olibawa omutima ogukakanyadde, ekikolimo kyo kiriba kubo. |
|
| 66 |
|
| Olibayigganya n'obusungu, n'obazikiriza okuva wansi w'eggulu lya Mukama. |
|
|
|
|