|
| 1 |
|
| Zaabu afumye atya, zaabu omulungi atalazze atya? Amayinja amatukuvu gasaasaanye mu nsonda ya buli luguudo. |
|
| 2 |
|
| Batabani ba Siyoni abaali ab'omuwendo ab'ebbeeyi okwenkana zaabu omukuŋŋunte, batwalibwa batya ng'ensumbi ez'ebbumba, omulimu gw'emikono gy'omubumbi? |
|
| 3 |
|
| N'ebibe biggyayo amabeere gaabyo ne biyonsa obwana bwabyo; naye muwala w'abantu bange akambuwadde nga maaya mu ddungu. |
|
| 4 |
|
| Olulimi lw'omuwere ayonka lumukwatidde ku kibuno olw'ennyonta; amabujje gaasaba emmere, naye tewaali agigawa. |
|
| 5 |
|
| Abaalyanga ebicepere bataayira mu nguudo; abaakulira mu ngoye entwakaavu baavulira mu lubungo. |
|
| 6 |
|
| Ekibi ky'omuwala w'abantu bange kinene n'okusinga ekya Sodoma, ekyazikirizibwa mu kaseera obuseera nga tewali na mukono gukikutteko. |
|
| 7 |
|
| Abakungu baakyo baali basinga omuzira okutukula, nga beeru okusinga amata, emibiri gyabwe nga mimyufu okukira eddulu, mu ndabika baali ng'ejjinja lya saffiro. |
|
| 8 |
|
| Naye kati mu ndabika baddugala okusinga enziro, ku nguudo tebakyategeerekeka, ensusu zaabwe zetuggidde ku magumba gaabwe, zikaze okwenkana oluku. |
|
| 9 |
|
| Abattibwa ekitala baali kale kale okusinga abaafa enjala; abo abaafumitibwa bakenena olw'okubulwa akookulya okuva mu nnimiro. |
|
| 10 |
|
| N'emikono gyabwe abakazi ab'omutima omusaasizi baafumba abaana baabwe; abo ye yali emmere yaabwe nga muwala w'abantu bange azikiriziddwa. |
|
| 11 |
|
| Omukama alaze obuswandi bwe bwonna, afukumudde obusungu bwe obwesera, ateekedde omuliro mu Siyoni, oguwemmense emisingi gyakyo. |
|
| 12 |
|
| Bakabaka b'ensi tebakkiriza, wadde bonna abasula mu nkulungo y'ensi, nti omulabe n'omuzigu baliyingira mu miryango gya Yeruzaalemu. |
|
| 13 |
|
| Naye ekyo kyabaawo olw'ebibi by'abalanzi be n'olw'obugwenyufu bwa bakabona be abaayiwa mu makkati ge omusaayi gw'abatuukirivu. |
|
| 14 |
|
| Baatangatanga mu nguudo nga bamuzibe, nga basaabaanye omusaayi, ne wataba n'omu asobola kukwata ku byambalo byabwe. |
|
| 15 |
|
| “Mugende, temuli balongoofu,” bwe batyo bwe baabawereekerezanga, “mugende, mugende, temubaako kye mukwatako!” Bwe badduka, baatangatanga, ab'amawanga ne bagamba nti: “Na wano tebajja kusengawo.” |
|
| 16 |
|
| Omukama yennyini abasaasaanyizza, takyaddamu kubatunuulira; bakabona tebassibwamu kitiibwa, n'abakadde tebaalagwa kisa. |
|
| 17 |
|
| Amaaso gaffe gayimbadde olw'okutunula nga tulinda obuyambi obutajja; twayima mu minaala gyaffe ne tulindirira, eggwanga eritaasobola kutulokola. |
|
| 18 |
|
| Basuula enkessi buli we tuyita, tuleme kuyita mu makubo gaffe; entuuko zaffe zisembedde; ennaku zaffe zisigadde mbale, kubanga enkomerero yaffe etuuse. |
|
| 19 |
|
| Abaali batuwondera baali bawenyuka okusinga empungu ez'oku ggulu; baatugoba okutuyisa mu nsozi, ne batuteegera mu ddungu. |
|
| 20 |
|
| Omukka gw'emivumbo gyaffe, omusiige w'Omukama, yakwatirwa mu mutego gwabwe, oyo gwe twayogerangako nti: “Mu kisiikirize kyo mwe tunaabeeranga nga tuli eyo mu mawanga.” |
|
| 21 |
|
| Sanyuka ojaganye, muwala wa Edomu ggwe asula mu nsi y'e Wuuzi; naye n'ewuwo ekikompe kiriweerezebwayo; olitamiira ne weereka bukunya. |
|
| 22 |
|
| Ekibonerezo ky'obugwenyufu bwo kiwedde, ayi muwala wa Siyoni, takyakukuumidde mu buwaŋŋanguse nate; naye ggwe, muwala wa Edomu, ajja kubonereza obugwenyufu bwo, ayanike ebibi byo. |
|
|
|
|