|
| 1 |
|
| Zaabu ng’ettalazze! Zaabu ennungi ng’efuuse! Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye buli luguudo we lutandikira. |
|
| 2 |
|
| Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo abaali beenkana nga zaabu ennungi, kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba, omulimu gw’emikono gy’omubumbi. |
|
| 3 |
|
| Ebibe biyonsa abaana baabyo, naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa, bafaanana nga bammaaya mu ddungu. |
|
| 4 |
|
| Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina, olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke; abaana basaba emmere naye tewali n’omu agibawa. |
|
| 5 |
|
| Abaalyanga ebiwoomerera basabiriza ku nguudo; n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka bali ku ntuumu ez’ebisasiro. |
|
| 6 |
|
| Ekibonerezo ky’abantu bange kisinga ekya Sodomu, ekyawambibwa mu kaseera akatono, nga tewali n’omu azze kukibeera. |
|
| 7 |
|
| Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira, nga beeru okusinga amata; n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu, era banyirivu nga safiro. |
|
| 8 |
|
| Naye kaakano badduggala okusinga enziro, era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo. Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe; lukaze ng’ekiti ekikalu. |
|
| 9 |
|
| Abafa ekitala bafa bulungi okusinga abafa enjala, kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo olw’obutaba na mmere mu nnimiro. |
|
| 10 |
|
| Abakazi ab’ekisa abaagala abaana bafumbye abaana baabwe; abaana abaafuuka emmere abantu bange bwe baazikirizibwa. |
|
| 11 |
|
| Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi, era abayiyeeko obusungu bwe obungi. Yakoleeza omuliro mu Sayuuni ogwayokya emisingi gyakyo. |
|
| 12 |
|
| Bakabaka b’ensi n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza, nti abalabe n’ababakyawa baliyingira mu wankaaki wa Yerusaalemi. |
|
| 13 |
|
| Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be, n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be, abaayiwa omusaayi gw’abatuukirivu abaababeerangamu. |
|
| 14 |
|
| Badoobera mu nguudo nga bamuzibe; bajjudde omusaayi so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe. |
|
| 15 |
|
| Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu! Muviireewo ddala, so temutukwatako!” Bwe baafuuka emmombooze, amawanga gabagobaganya nga boogera nti, “Tebakyasaana kubeera wano.” |
|
| 16 |
|
| Mukama yennyini abasaasaanyizza, takyabafaako. Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa, newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo. |
|
| 17 |
|
| Amaaso gaffe gakooye olw’okulindirira okubeerwa okutajja; nga tulindirira eggwanga eriyinza okutulokola. |
|
| 18 |
|
| Baatucocca ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe; enkomerero yaffe n’eba kumpi, n’ennaku zaffe ne ziggwaayo. |
|
| 19 |
|
| Abaatuyiganyanga baatusinga embiro okusinga n’empungu ez’omu bbanga. Baatugobera mu nsozi ne batuteegera mu ddungu. |
|
| 20 |
|
| Oyo Mukama gwe yafukako amafuta yagwa mu mitego gyabwe. Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye ne tubeeranga mu mawanga. |
|
| 21 |
|
| Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu, abeera mu nsi ya Uzi; naye lumu olinywa ku kikompe n’otamiira ne weeyambula. |
|
| 22 |
|
| Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo, talikwongerayo mu busibe. Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza, n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde. |
|
|
|
|