|
| 1 |
|
| Jjukira, ai Mukama, ebitujjidde: Tunula olabe okuvumibwa kwaffe. |
|
| 2 |
|
| Obusika bwaffe bukyuse okuba obw'abanaggwanga, Ennyumba zaffe okuba ez'abatali ba muno. |
|
| 3 |
|
| Tuli bamulekwa, so tetulina bakitaffe, Bannyaffe bali nga bannamwandu. |
|
| 4 |
|
| Tunywedde amazzi gaffe lwa bintu; Enku zaffe bazituguza. |
|
| 5 |
|
| Abatucocca batuuse ku nsingo zaffe: Tukooye so tetulina kiwummulo. |
|
| 6 |
|
| Tubagololedde Abamisiri emikono, N'Abasuuli olw'okukkuta emmere. |
|
| 7 |
|
| Bakitaffe baayonoona so tebaliiwo; Naffe twetisse obutali butuukirivu bwabwe. |
|
| 8 |
|
| Abaddu batufuga: Tewali wa kutulokola mu mukono gwabwe. |
|
| 9 |
|
| Tufuna emmere yaffe lwa kusingawo bulamu bwaffe Olw'ekitala eky'omu ddungu. |
|
| 10 |
|
| Eddiba lyaffe liddugadde ng'akabiga. Olw'olubugumu olw'enjala olwokya. |
|
| 11 |
|
| Baakwatira abakazi mu Sayuuni, Abawala abatamanyi musajja mu bibuga bya Yuda. |
|
| 12 |
|
| Abakungu baawanikibwa n'omukono gwabwe: Amaaso g'abakadde tebaagassaamu kitiibwa. |
|
| 13 |
|
| Abalenzi baasitula olubengo, N'abaana abato beesittala nga beetikka enku. |
|
| 14 |
|
| Abakadde baweddewo mu mulyango Abalenzi baleseeyo okuyimba kwabwe. |
|
| 15 |
|
| Essanyu ery'omu mutima gwaffe likomye: Okuzina kwaffe kufuuse okuwuubaala. |
|
| 16 |
|
| Engule egudde evudde ku mutwe gwaffe: Zitusanze kubanga twonoonye. |
|
| 17 |
|
| Omutima gwaffe kyeguvudde guyongobera; Olw'ebyo amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala; |
|
| 18 |
|
| Olw'olusozi lwa Sayuuni, olulekeddwawo; Ebibe bitambulira okwo. |
|
| 19 |
|
| Ggwe, ai Mukama, obeerera ennaku zonna; Entebe yo ebaawo okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna. |
|
| 20 |
|
| Lwaki okutwerabira ennaku zonna, N'otuleka ebiro ebyenkanidde wano? |
|
| 21 |
|
| Tukyuse gy'oli, ai Mukama, naffe tunaakyusibwa; Ennaku zaffe ozizze buggya ng'edda. |
|
| 22 |
|
| Naye otusuulidde ddala, Otusunguwalidde nnyo. |
|
|
|
|