Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Jjukira ayi Mukama, ebitutuuseeko, tunuulira olabe okuswala kwaffe. |
| 2 |
| Ebintu byaffe bitwaliddwa bannamawanga, ennyumba zaffe zirimu bagwira. |
| 3 |
| Bakitaffe battiddwa omulabe, bannyaffe bannamwandu kati. |
| 4 |
| Amazzi tusasulira ge tunywa, era tugula n'enku. |
| 5 |
| Tusibibwa nga mbuzi mu bulago, tukoowa ne tutafuna kiwummulo. |
| 6 |
| Okufuna ke tulya obutafa, tukasaba Bamisiri era n'Abassiriya. |
| 7 |
| Bajjajjaffe abaayonoona tebakyaliwo, naye tubonaabona olw'ebibi byabwe. |
| 8 |
| Tufugibwa baddu, nga tewali wa kutununula mu buyinza bwabwe. |
| 9 |
| Okunoonya emmere tuwaayo bulamu bwaffe, kubanga abatemu babunye buli wantu. |
| 10 |
| Enjala etulwazizza omusujja, ne twokya ng'akabiga! |
| 11 |
| Baakwatira olw'empaka abakazi mu Siyooni, n'abawala mu byalo bya Buyudaaya. |
| 12 |
| Abakungu baffe batwalibwa okuttibwa. Abantu abakulu tebassibwamu kitiibwa. |
| 13 |
| Abavubuka babawaliriza okusa ku lubengo. Abalenzi abato batalantuka nga beetisse ebinywa by'enku. |
| 14 |
| Abantu abakulu tebakyatuula kuteeseza ku mulyango. N'abalenzi n'abawala tebakyayimba. |
| 15 |
| Essanyu mu bulamu bwaffe likomye, tukungubaga mu kifo ky'okuzina. |
| 16 |
| Tetukyalina kituweesa kitiibwa. Zitusanze, kubanga twayonoona. |
| 17 |
| Olw'ekyo twennyamidde mu mitima, amaaso gaffe gazzeeko ekifu, |
| 18 |
| kubanga Olusozi Siyooni lulekeddwa awo ttayo, ebibe bye bikumbirako. |
| 19 |
| Naye ggwe, ayi Mukama, oli kabaka ennaku zonna, era onoofuganga bulijjo. |
| 20 |
| Lwaki okutwerabira bw'otyo! Toliddayo kutujjukira? |
| 21 |
| Tukomyewo gy'oli, ayi Mukama, ozzeewo ebirungi byaffe eby'edda! |
| 22 |
| Oba otusuulidde ddala? Obusungu bwo tebukkakkaneko? |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/lamentations/005.mp3
5
5