|
| 1 |
|
| Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko. Tunula olabe ennaku yaffe. |
|
| 2 |
|
| Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga, n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba. |
|
| 3 |
|
| Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe, ne bannyaffe bafuuse bannamwandu. |
|
| 4 |
|
| Tusasulira amazzi ge tunywa; n’enku tuteekwa okuzigula. |
|
| 5 |
|
| Abatucocca batugobaganya; tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira. |
|
| 6 |
|
| Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli okutufuniranga ku mmere. |
|
| 7 |
|
| Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa, naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu. |
|
| 8 |
|
| Abaddu be batufuga, tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe. |
|
| 9 |
|
| Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere, olw’ekitala ekiri mu ddungu. |
|
| 10 |
|
| Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro olw’enjala ennyingi. |
|
| 11 |
|
| Abakyala ba Sayuuni, n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi. |
|
| 12 |
|
| Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa. |
|
| 13 |
|
| Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo, n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku. |
|
| 14 |
|
| Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga, n’abavubuka tebakyayimba. |
|
| 15 |
|
| Emitima gyaffe tegikyasanyuka, n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga. |
|
| 16 |
|
| Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe. Zitusanze kubanga twonoonye! |
|
| 17 |
|
| Emitima gyaffe kyegivudde gizirika, era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala. |
|
| 18 |
|
| Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere, ebibe kyebivudde bitambulirako. |
|
| 19 |
|
| Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna; entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe. |
|
| 20 |
|
| Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna? Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli. |
|
| 21 |
|
| Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama, otuzze buggya ng’edda; |
|
| 22 |
|
| wabula ng’otusuulidde ddala, era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu. |
|
|
|
|