Balabye ebitaliimu n’obulaguzi obw'obulimba abo aboogera nti Mukama ayogera; so nga Mukama tabatumye: era basuubizizza abantu ng'ekigambo kigenda kunywezebwa.
Era omukono gwange guliba nulabe wa bannabbi abalaba ebitaliimu ne balagula eby'obulimba: tebaliba mu abo abateesa ab'omu bantu bange, so tebaliwandiikibwa nu kiwandiike eky'ennyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama Katonda.
Kubanga, weewaawo, kubanga basenzesenze abantu bange, nga boogera nti Mirembe; so nga tewali mirembe; era omuntu bw'azimba ekisenge, laba, bakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi:
Kale bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikimenyera ddala ne kibuyaga mungi nga ndiko ekiruyi; era walibaawo enkuba ekulukuta ennyo nga ndiko obusungu, n'amayinja ag'omuzira amanene okukimalawo.
Bwe ntyo bwe ndyabiza ddala ekisenge kye mwasiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi, ne nkissa wansi, omusingi gwakyo n'okweruka ne gweruka: era kirigwa, nammwe mulimalibwawo wakati mu kyo: kale mulimanya nga nze Mukama:
Bwe ntyo bwe ndituukiriza ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi; era ndibagamba nti Ekisenge tekikyaliwo newakubadde abo abaakisiigako;
Era n'ebiwero byammwe ndibiyuza, ne mponya abantu bange mu mukono gwammwe, so nga tebakyabeera mu mukono gwammwe okuyiggibwa; kale mulimanya nga nze Mukama.