Bolesebwa ebitaliyo, boogera eby'obulimba nga bagamba nti, ‘Mukama ayogedde,’ so nga Nze Mukama sibatumye, era basuubizizza abantu nti bye boogedde bijja kutuukirira.
Nja kubonereza bannabbi abalaba ebitaliyo ne balagula eby'obulimba: tebalituula mu kibiina ky'abantu bange abakuŋŋaana okuteesa mu abo abateesa, era tebaliwandiikibwa mu kiwandiiko ky'ennyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri. Kale mulimanya nga nze Mukama Katonda.
Kale bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ndikimenyera ddala ne kibuyaga omungi nga ndiko ekiruyi; era ndireeta enkuba ey'amaanyi, nga erimu amayinja ag'omuzira amanene, nga ndiko obusungu, okukimalawo.
Bwe ntyo bwe ndyabiza ddala ekisenge kye mwasiigako langi ne nkisuula wansi, omusingi gwakyo ne gusigala nga gweyerudde. Kirigwa, nammwe ne kibazikiriza mwenna. Kale mulimanya nga nze Mukama.
Bwe ntyo bwe ndimalira ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiigako langi, era ndibagamba nti Ekisenge tekikyaliwo newakubadde abo abaakisiigako langi;
be bannabbi ba Isiraeri abaalanga ebifa ku Yerusaalemi, nga bagamba nti baafuna okwolesebwa nga kinaaba mirembe, so nga tewali mirembe,” bw'ayogera Mukama Katonda.
Era n'eby'okwebikirira byammwe ndibiyuza, ne mponya abantu bange mu mukono gwammwe, so nga tebakyabeera mu mukono gwammwe okuyiggibwa; kale mulimanya nga nze Mukama.