“Ggwe omuntu, ensi bw'ekola ebibi n'ennyiiza, ndigolola omukono gwange ne ngibonereza, ne ngimma emmere gye yeetaaga. Ndigireetamu enjala, ne ngimalamu abantu era n'ensolo.
Abantu abo abasatu: Noowa, ne Daniyeli ne Yobu, ne bwe bandibadde bali mu yo, bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka olw'obulungi bwabwe.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba.
abasajja abo bonsatule ne bwe bandibadde nga bali omwo, Nze Mukama ndayira nti nga bwe ndi omulamu, tebandiwonyezza wadde abaana abaabwe. Bandyewonyezza bokka, naye ensi n'ezika.
abasatu abo ne bwe bandibadde mu nsi eyo, Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga bwe ndi omulamu, tebandiwonyezza wadde abaana abaabwe, wabula bo bennyini be bandiwonyeewo bokka olw'obulungi bwabwe.
Noowa ne Daniyeli ne Yobu ne bwe bandibadde nga bali omwo, Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga bwe ndi omulamu, tebandiwonyezza wadde abaana abaabwe. Bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka olw'obulungi bwabwe.”