“ ‘Omuyisirayiri yenna oba omugenyi abeera mu Isirayiri bw’ananvangako, n’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, ate n’agenda eri nnabbi okunneebuuzaako, nze Mukama nze nnaamwanukulanga.
“ ‘Nnabbi bw’anaasendebwasendebwanga okuwa obubaka ng’ategeeza nti nze Mukama Katonda nsenzesenze nnabbi oyo, ndigolola omukono gwange ku ye ne muzikiriza okumuggya mu bantu bange Isirayiri.
“Omwana w’omuntu, ensi bw’ekola ebibi mu maaso gange n’ebeera etali nneesigwa, ne ngolola omukono gwange gy’eri ne nsalako obugabirizi bw’emmere yaabwe, ne mbasindikira ekyeya, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe,
“Oba newaakubadde nga nsindika ensolo enkambwe ez’omu nsiko mu nsi eyo, ne zigyonoona ne zigireka nga temuli mwana n’omu, n’efuuka matongo, ne wataba n’omu agiyitamu olw’ensolo ezo,
ddala nga bwe ndi omulamu, abasajja abo abasatu tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. Bo bokka be bandiwonye, naye ensi yandifuuse matongo.
nga bwe ndi omulamu, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandigibaddemu, tebandiwonyezza mutabani waabwe newaakubadde muwala waabwe. Bo bokka be nandiwonyezza olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
Naye ate nga walibaawo abamu abaliwona, abaana aboobulenzi n’aboobuwala abaliggibwamu. Balijja gy’oli, era bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe, olikkiriza akabi ke ndeese ku Yerusaalemi, buli kabi ke mmuleeseeko.