Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Mukama n'ayogera nange n'agamba nti: |
| 2 |
| “Ggwe omuntu, omuzabbibu olina bw'ogugeraageranya n'omuti, oba n'ettabi lyonna, ery'omuti ogw'omu kibira? |
| 3 |
| Omuzabbibu bayinza okuguggyako emiti ne babaako kye bagibajjamu? Oba bayinza okuggyako wadde enkondo okubaako kye bagiwanikako? |
| 4 |
| Bayinza kugukumisa bukumisa muliro. Era bwe gumala okwokebwa gye gusemba erudda n'erudda, era nga ne wakati guyidde, olina eky'omugaso ky'oyinza okugukolamu? |
| 5 |
| Oba nga tegwaliko kye gugasa nga gukyali mulamba, kale omuliro nga gumaze okugwokya ne guggya, lwe gunaaba n'omugaso?” |
| 6 |
| Kale Mukama Afugabyonna kyava agamba nti: “Nga bwe mpaayo omuzabbibu oguggyibwa mu miti egy'omu kibira okukumisa omuliro, bwe ntyo bwe ndiwaayo abantu ababeera mu Yerusaalemu, ne mbabonereza. |
| 7 |
| Ne bwe balidduka omuliro, era gulibookya. Bwe ndibabonereza, kale mulimanya nga Nze Mukama. |
| 8 |
| Ndizisa ensi, kubanga abantu baamu bagaanye okuba abeesigwa.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/ezekiel/015.mp3
48
15