Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, |
| 2 |
| “Omwana w’omuntu, omuti gw’omuzabbibu gusinga gutya ettabi ery’omuti ku miti egy’omu kibira? |
| 3 |
| Guvaamu omuti ogukolebwamu ekintu kyonna eky’omugaso? Kiyinzika ogukolamu eŋŋango ey’okuwanikako ekintu kyonna? |
| 4 |
| Bwe gusuulibwa mu muliro okuba enku, omuliro ne gugwokya eruuyi n’eruuyi, ne wakati ne wasiriira guba gukyaliko kye gugasa? |
| 5 |
| Bwe guba nga tegwali gwa mugaso nga mulamba, olwo guyinza okubaako kye gugasa nga gwokebbwa mu muliro ne gusiriira?” |
| 6 |
| Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Nga bwe njogedde ku muzabbibu mu miti egy’omu kibira, gwe ntadde mu muliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndyokya abatuuze ba Yerusaalemi. |
| 7 |
| Ndikyusa amaaso gange ne mbatunuulira, era ne bwe balidduka, omuliro gulibookya, era mulimanya nga nze Mukama Katonda. |
| 8 |
| Ndizisa ensi, kubanga tebabadde beesigwa, bw’ayogera Mukama Katonda.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/ezekiel/015.mp3
48
15