EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera |
| 2 |
| nti, “ Omwana w'omuntu, omuzabbibu gusinga gutya omuti gwonna, oba ettabi ery'ogumu ku miti egy'omu kibira? |
| 3 |
| Bayinza okuguggyako emiti okukolamu ekintu kyonna? Oba abantu bayinza okuguggyangako enkondo okuwanikako ekintu kyonna? |
| 4 |
| Bwe gusuulibwa mu muliro okuba enku, omuliro ne gugwokya eruuyi n'eruuyi ne wakati nga gusiriide, oba olina eky'omugaso ky'oyinza okugukolamu? |
| 5 |
| Bwe gwali nga gukyali mulamba, tegwaliko kye gugasa, kale omuliro nga gumaze okugwokya ne gusiriira, olwo lwe gunaaba n'omugaso? |
| 6 |
| Kale Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Nga bwe mpaayo omuzabbibu mu miti egy'omu kibira, okuba enku okwokebwa omuliro, bwe ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi. |
| 7 |
| Ndikyusa amaaso gange ne mbatunuulira, era ne bwe balidduka, okufuluma mu muliro, era omuliro gulibookya; kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibabonereza. |
| 8 |
| Era ndizisa ensi kubanga tebabadde beesigwa, bw'ayogera Mukama Katonda.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/ezekiel/015.mp3
48
15