oyogere nti Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Yerusaalemi nti Okuzaalibwa kwo n'ekika kyo bya mu nsi ey'omu Kanani; Omwamoli ye yali Kitaawo, ne nnyoko yali Mukiiti.
Era eby'okuzaalibwa kwo ku lunaku kwe wazaalirwa tewasalibwa kalira, so tewanaazibwa na mazzi okukutukuza; tewateekebwamu munnyo n'akatono, so tewabikkibwako n'akatono.
Awo bwe nnakuyitako ne nkulabanga weekulukuunya mu musaayi gwo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu: weewaawo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu.
Ne nkwaza ng'ekimuli eky'omu nnimiro, ne weeyongera n'ofuuka mukulu, n'otuuka ku buyonjo obulungi ennyo; amabeere go ne gamera, enviiri zo ne zikula; era naye ng'oli bwereere nga tobikkiddwako.
Awo bwe nnakuyitako ne nkutunuulira, laba, ekiseera kyo nga kye kiseera eky'okwagalirwamu; ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo: weewaawo, ne nkulayirira, ne ndagaana naawe endagaano, bw'ayogera Mukama Katonda, n'ofuuka wange.
N'okwambaza ne nkwambaza omulimu ogw'eddalizi, ne nkunaanika engato ez'amaliba g'eŋŋonge ne nkusiba olwebagyo olwa bafuta ennungi, ne nkubikkako aliiri.
Era watoola ku byambalo byo, ne weekolera ebifo ebigulumivu ebyayonjebwa n'amabala agatali gamu, n'oyendera ku byo: ebifaanana bwe bityo tebirijja so tebiriba bwe bityo.
Ozimbye ekifo kyo ekigulumivu buli luguudo we lusibuka, era ofudde obulungi bwo okuba eky'omuzizo, era obikkulidde ku bigere buli muyise n'oyongera ku bwenzi bwo.
Era ndikuwaayo mu mukono gwabwe, kale balisuula ekifo kyo ekikulumbala ne bamenyaamenya ebifo byo ebigulumivu; era balikwambula ebyambalo byo, ne banyaga eby'obuyonjo bwo ebirungi: kale balikuleka ng'oli bwereere ng'obikkuddwako.
Era balyokya ennyumba zo omuliro ne batuukiriza emisango ku ggwe abakazi bangi nga balaba; era ndikulekesaayo obwenzi, so toliwaayo mpeera nate lwa kubiri.
Era naye totambuliranga mu makubo gaabwe, so tokolanga ng'emizizo gyabwe bwe giri; naye ekyo ng'okiyita kigambo kitono nnyo, n'osinga bo okuba omukyamu mu makubo go gonna.
Laba, buno bwe bwali obutali butuukirivu bwa muganda wo Sodomu; amalala n'okukkutanga emmere n'okwesiima nga yeegolola byali mu ye ne mu bawala be; so teyanyweza mukono gwa mwavu n'eyeetaaga.
Era naawe beerako ensonyi zo ggwe, kubanga osaze omusango baganda bo okusinga; olw'ebibi byo bye wakola eby'emizizo okukira bo kyebavudde bakusinga obutuukirivu: weewaawo, era swala obeereko ensonyi zo kubanga oweesezza baganda bo obutuukirivu.
Era baganda bo, Sodomu ne bawala be, balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, ne Samaliya ne bawala be balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, naawe ne bawala bo mulidda mu bukulu bwammwe obw'edda.
Kale n'olyoka ojjukira amakubo go, n'okwatibwa ensonyi, bw'oliweebwa baganda bo, baganda bo abakulu ne baganda bo abato: era ndikubawa okuba abawala, naye si lwa ndagaano yo.