Ne gumera ne guba muzabbibu ogulanda omumpimpi, amatabi gaagwo ne gagikyukira n'emmizi gyagwo gyali wansi waayo: kale ne guba muzabbibu ne gusuula amatabi, ne gumera amasanso.
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima mu kifo kabaka mw'abeera eyamufuula kabaka, gwe yanyoomako ekirayiro kye n'amenya endagaano ye, oyo gy'ali wakati mu Babulooni gy'alifiira.
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nga bwe ndi omulamu, mazima ekirayiro kyange ky'anyoomye n'endagaano yange gy'amenye ndibituusa n'okubituusa ku mutwe gwe ye.
Era abadduse be bonna mu bibiina bye byonna baligwa n'ekitala, n'abo abalisigalawo balisaasaanyizibwa eri empewo zonna kale mulimanya nga nze Mukama njogedde.
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era nditwala ku busongezo obwa waggulu obw'omuvule ne mbusimba; ndinogako ku masanso gaagwo amato agakomererayo essanso erimu eggonvu, era ndirisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu:
ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri kwe ndirisimba kale lirisuula amatabi ne libala ebibala, ne guba omuvule omulungi era wansi waagwo wanaabeeranga ennyonyi zonna ez'ebiwaawaatiro byonna; mu kisiikirize eky'amatabi gaagwo we zinaatuulanga.
N'emiti gyonna egy'omu ttale girimanya nga nze Mukama nkakkanyizza omuti omuwanvu, era nga ngulumizizza omuti omumpi, era nga nkazizza omuti ogwamera, era nga njezezza omuti omukalu: nze Mukama njogedde era nkikoze.