Ne gumera ne guba muzabbibu ogulanda omumpimpi, amatabi gaagwo ne gatunula waggulu empungu eyo gy'eri, emirandira ne gisimba wansi mu ttaka. Negufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi, ne gujjula amakoola.
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima alifiira mu Babbulooni, mu nsi ya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n'amenya endagaano gye yakola naye.
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “ Era nditwala ku busongezo obwa waggulu obw'omuvule ne mbusimba; ndinogako ku masanso gaagwo amato agakomererayo essanso erimu eggonvu, era ndirisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu:
ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri kwe ndirisimba: kale lirisuula amatabi ne libala ebibala, ne guba omuvule omulungi: era wansi waagwo wanaabeeranga ennyonyi zonna ez'ebiwaawaatiro byonna; mu kisiikirize eky'amatabi gaagwo we zinewogomanga.
N'emiti gyonna egy'omu ttale girimanya nga nze Mukama nkakkanyizza omuti omuwanvu, era nga ngulumizizza omuti omumpi, era nga nkazizza omuti ogwamera, era nga njezezza omuti omukalu: nze Mukama nkyogedde era ndikikola.”