Mubadde mutya n'okugera ne mugerera olugero luno ensi ya Isiraeri nga mwogera nti Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula n'amannyo g'abaana ganyenyeera?
so nga taliiridde ku nsozi, so nga tayimusizza maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, so nga tayonoonye mukazi wa munne, so nga tasemberedde mukazi mu biro eby'okweyawula kwe;
so nga talyazaamaanyizza muntu yenna, naye eyaddizanga omwewoze omusingo gwe, so nga tanyaze muntu yenna lwa maanyi, era eyawanga omuyala emmere ye n'abikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo;
atawolanga lwa magoba, so nga takkirizanga ebisukkirira byonna, eyaggyako omukono gwe ku butali butuukirivu, eyatuukirizanga omusango ogw'amazima eri omuntu ne munne,
eyatambuliranga mu mateeka gange, era eyakwatanga emisango gyange, okukolanga eby'amazima: oyo ye mutuukirivu talirema kuba mulamu, bw'ayogera Mukama Katonda.
eyawolanga olw'amagoba, era eyakkiriza ebisukkirira: kale aliba mulamu ono? taliba mulamu: akoze eby'emizizo bino byonna: talirema kufa; omusaayi gwe guliba ku ye.
so atalyazaamaanyanga muntu yenna, atasingirwanga kintu, so atanyaganga lwa maanyi, naye eyawanga omuyala emmere ye, eyabikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo,
Era naye mwogera nti Omwana kiki ekimulobera okubaako obutali butuukirivu bwa kitaawe? Omwana bw'aba nga akoze ebyalagirwa eby'ensonga, era ng'akutte amateeka gange gonna, era ng'agakoze, talirema kuba mulamu.
Emmeeme eyonoona ye erifa: omwana talibaako butali butuukirivu bwa kitaawe, so ne kitaawe talibaako butali butuukirivu bwa mwana we; obutuukirivu obw'omutuukirivu buliba ku ye, n'obubi obw'omubi buliba ku ye.
Era naye mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Muwulire nno, ai ennyumba ya Isiraeri: ekkubo lyange si lye lyenkanankana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana?
Era naye ennyumba ya Isiraeri boogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Ai ennyumba ya Isiraeri, amakubo gange si ge genkanankana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana?