Ne bagisiba mu jjiririzo n'amalobo, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; baagitwala mu bigo, eddoboozi lyayo lireme okuwulirirwa nate ku nsozi za Isiraeri.
Era yalina emiggo eminywevu okuba emiggo egy'obwakabaka egy'abo abaafuganga, n'obukulu bwabwe bwagulumizibwa wakati mu matabi amaziyivu ne balengerwa olw'obuwanvu bwabwe nga balina olufulube lw'amatabi gaabwe.
Era omuliro guvudde mu miggo egy'amatabi ge, gwokezza ebibala bye, ne kutaba ku ye omuggo munywevu okuba omuggo ogw'obwakabaka ogw'okufuga. Ebyo bya kukungubaga, era biriba bya kukungubaga.