×

Luganda Bible 2003

Ezeekyeri 19

1
Mukama n'aŋŋamba nti: “Kati tandika okukungubagira abakungu ba Yisirayeli,
2
ogambe nti: ‘Nnyoko yali ng'empologoma enkazi ey'amaanyi mu mpologoma ensajja. Yayonseza abaana baayo wakati mu mpologoma envubuka,
3
n'ekuza omu ku bo n'aba empologoma envubuka, n'eyiga okuyigga, n'etandika okulya abantu.
4
Amawanga ne gagikubira enduulu ne gagikwasa mu bunnya ne bagisika n'amalobo ne bagitwala mu nsi y'e Misiri.
5
Nnyina waayo n'erinda. Yalaba tewakyali ssuubi, n'eyola omwana gwayo omulala ne gufuuka empologoma envubuka.
6
Bwe yakulira ddala, n'ekumbira mu zinnewaayo, n'eyiga okuyigganga wamu n'okulya abantu.
7
Amayumba gaabwe n'egamenya, ebibuga byabwe n'ebizisa. Ng'ewulugumye, ne batya, ne baleka ttayo ebyabwe. Ensi eyo ne bagiddukamu.
8
Amawanga ne gakuŋŋaana, ne gagitaayiza wonna n'etegebwa ebitimba, ne bagikwasa mu bunnya.
9
Ne bagisika n'amalobo ne bagisibira mu kiyumba, ne bagitwalira kabaka w'e Babilooni. Ne bagikuumira mu kigo, okuwuluguma kwayo baleme kuddayo kukuwulira mu nsozi za Yisirayeli.
10
Nnyoko yali ng'omuzabbibu ogusimbiddwa mu nnimiro, okumpi n'awali amazzi ne gujjula obutabitabi obutabala.
11
Mu matabi gaagwo amagumu, ne mutemwa emiggo egy'obwakabaka ne gikwatibwa abafuzi. Omuzabbibu ne guwanvuwa ne gugulumira amatabi, ne galengerwa amangi bwe gaziyidde amakoola.
12
Naye ne gukuulibwayo abo abagulinako ekiruyi, ne gusuulibwa wansi. Empewo z'ebuvanjuba zajja ne zigukaza ebibala. Ne guwogolwa amatabi, ne guwotoka ne bagwokya.
13
Kaakano gusimbiddwa mu nsi enkalu ey'eddungu.
14
Omuliro guvudde mu muggo ogwatemwa mu matabi agaagwo, ne gwokya ebibala byagwo. Tekukyali matabi magumu mutemwa miggo gya bwakabaka.’ Luno lwe luyimba olw'okukungubaga olunaayimbibwanga bulijjo.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes