Luganda Bible
|
| 1 |
| N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, yimirira ku bigere bye nange naayogera naawe. |
| 2 |
| Kale omwoyo ne guyingira mu nze bwe yayogera nange, ne gunnyimiriza ku bigere byange; ne mpulira oyo eyayogera nange. |
| 3 |
| N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri eri amawanga amajeemu, abanjeemedde: bo ne bajjajjaabwe bansobyanga okutuukira ddala ku lunaku olwa leero. |
| 4 |
| N'abaana ba kyejo, era ba mitima mikakanyavu; nkutuma eri abo: era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda. |
| 5 |
| Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo, (kubanga nnyumba njeemu era naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi. |
| 6 |
| Naawe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga biri naawe, era ng'obeera mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu. |
| 7 |
| Era olibagamba ebigambo byange oba nga banaawulira) oba nga banaalekayo: kubanga bajeemu nnyo nnyini. |
| 8 |
| Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa: |
| 9 |
| Awo bwe nnatunula, laba, omukono gugololwa eri nze; era, laba, omuzingo gw'ekitabo nga guli omwo; |
| 10 |
| n'agwanjululiza mu maaso gange; era gwawandiikibwa munda ne kungulu: era mwawandiikibwamu okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/ezekiel/002.mp3
48
2