×

Luganda Bible 2003

Ezeekyeri 2

1
Oyo eyayogera, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, yimirira njogere naawe.”
2
Bwe yayogera nange, ne wabaawo omwoyo ogwannyingiramu, ne gunnyimiriza, ne mpulira oyo eyayogera nange.
3
N'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, nkutuma eri Abayisirayeli, ab'eggwanga ejjeemu. Bo ne bajjajjaabwe banvaako ne banjeemera, era bakyanjeemedde n'okutuusa kati.
4
Bantu bakakanyavu, era tebanzisaamu kitiibwa. Nkutuma gye bali obategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba.
5
Abajeemu abo, oba banaawuliriza, oba banaagaana okuwuliriza, naye balimanya nga waliwo omulanzi mu bo.
6
“Naye ggwe omuntu, tobatyanga, wadde okutyanga bye boogera, ne bw'onoobeeranga mu myeramannyo n'amaggwa, era n'obeera ne mu njaba ez'obusagwa. Totyanga bye boogera, era totiisibwatiisibwanga bukambwe bwa ntunula ya bajeemu abo.
7
Ojja kubategeeza bye mbagamba, oba bawuliriza oba bagaana okuwuliriza, kubanga bajeemu nnyo nnyini.
8
Naye ggwe omuntu, wulira kye nkugamba. Toba mujeemu nga bo. Yasamya akamwa ko, olye kye nkuwa.”
9
Bwe natunula, ne ndaba omukono ogugoloddwa gye ndi, nga gukutte omuzingo gw'ekitabo.
10
N'agwanjululiza mu maaso gange. Gwali guwandiikiddwako munda ne kungulu, nga muwandikiddwamu ebigambo by'okukungubaga, n'okukuba ebiwoobe, n'obuyinike.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes