Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimirira njogere naawe.” |
| 2 |
| Awo bwe yali ng’akyayogera nange, Omwoyo nanzikako n’annyimusa, ne mpulira ng’ayogera nange. |
| 3 |
| N’ayogera nti, “Omwana w’omuntu, nkutuma eri Abayisirayiri, eri eggwanga ejeemu eryanjeemera, era bo ne bajjajjaabwe banjeemera okuva edda n’okutuusa olunaku lwa leero. |
| 4 |
| Abantu be nkutumamu bakakanyavu era bakozi ba bibi. Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,’ |
| 5 |
| Oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga nnyumba njeemu, balimanya nga mu bo musituseemu nnabbi. |
| 6 |
| Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu. |
| 7 |
| Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu. |
| 8 |
| Naye ggwe omwana w’omuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ng’ennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.” |
| 9 |
| Awo ne ntunula, ne ndaba omukono nga gugoloddwa gye ndi, mu gwo nga mulimu omuzingo gw’ekitabo. |
| 10 |
| N’agwanjuluriza mu maaso gange, munda nga muwandiikibbwamu ne kungulu nga kuwandiikibbwako ebigambo eby’okukungubaga n’okukuba ebiwoobe, n’okukaaba. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/ezekiel/002.mp3
48
2