EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Oyo eyayogera n'aŋŋamba nti, “ Omwana w'omuntu, yimirira ku bigere byo, nange naayogera naawe.” |
| 2 |
| Awo bwe yali ng'akyayogera nange, Omwoyo ne guyingira mu nze, ne gunnyimiriza ku bigere byange, ne mpulira oyo eyayogera nange. |
| 3 |
| N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri, eri eggwanga ejjeemu: bo ne bajjajjaabwe bansobya okuva edda n'okutuusa ku lunaku olwa leero. |
| 4 |
| Bantu bakakanyavu, era tebanzisaamu kitiibwa. Nkutuma eri abo, era olibagamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda.’ |
| 5 |
| Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaagaana, kubanga nnyumba njeemu, naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi. |
| 6 |
| Naawe, ggwe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga bikwetoolodde, era ng'obeera wakati mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'obukambwe bwabwe, amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu. |
| 7 |
| Era olibagamba ebigambo byange, oba nga banaawulira, oba nga banaagaana: kubanga bajeemu nnyo nnyini. |
| 8 |
| Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba; tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa.” |
| 9 |
| Awo bwe nnatunula, laba, omukono ne gugololwa eri nze; era, laba, omuzingo gw'ekitabo nga guli omwo; |
| 10 |
| n'agwanjululiza mu maaso gange; gwali guwandiikiddwako munda ne kungulu. Nga guwandiikiddwamu ebigambo eby'okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/ezekiel/002.mp3
48
2