Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omusanvu mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja okubuuza Mukama ne batuula mu maaso gange.
Omwana w'omuntu, yogera n'abakadde ba Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Muzze okumbuuza? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe.
obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe nneeroboza Isiraeri ne nnyimusa omukono gwange eri ezzadde ery'ennyumba ya Yakobo, ne nneemanyisa eri bo mu nsi y'e Misiri, bwe nnayimusa omukono gwange eri bo, nga njogera nti Nze Mukama Katonda wammwe;
ku lunaku olwo nayimusa omukono gwange eri bo okubaggya mu nsi y'e Misiri, okubayingiza mu nsi gye nnali mbakettedde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna:
Naye ne banjeemera ne batayagala kumpulira; tebaasuula buli muntu emizizo egy'amaaso gaabwe, so tebaaleka bifaananyi bya Misiri: kale ne njogera okubafukako ekiruyi kyange, okutuukiriza obusungu bwange ku bo wakati mu nsi y'e Misiri.
Naye nakola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga, mwe baali, be nneetegereza mu maaso gaabwe gye bali, nga mbaggya mu nsi y'e Misiri.
Naye ennyumba ya Isiraeri ne banjeemera mu ddungu: tebaatambuliranga mu mateeka gange, ne bagaana emisango gyange, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; ne ssabbiiti zange ne bazoonoona nnyo; kale ne njogera okubafukirako ekiruyi kyange mu ddungu okubamalawo.
Era nate ne mbayimusiza omukono gwange mu ddungu nga sigenda kubaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna;
kubanga baagaana emisango gyange ne batatambuliranga mu mateeka gange ne boonoonanga ssabbiiti zange: kubanga omutima gwabwe gwagobereranga ebifaananyi byabwe.
Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti Temutambuliranga mu mateeka ga bajjajjammwe so temwekuumanga misango gyabwe so temweyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe:
Naye abaana ne banjeemera; tebaatambuliranga mu mateeka gange so tebaakwatanga misango gyange okugikolanga, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; baayonoonanga ssabbiiti zange; kale ne njogera okubafukirako ekiruyi kyange okutuukiriza obusungu bwange eri bo mu ddungu.
Kale, omwana w'omuntu, yogera n’ennyumba ya Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ne mu kino bajjajjammwe mwe banvumidde, kubanga bansobyako ekyonoono.
Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mweyonoonyesa ng'engeri bwe yali eya bajjajjammwe? era mwenda okugoberera emizizo gyabwe?
era bwe muwaayo ebirabo byammwe, bwe muyisa batabani bammwe mu muliro, mweyonoonyesa n'ebifaananyi byammwe byonna ne leero? kale naabuuzibwa mmwe, ai ennyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe:
Ndibakkiriza ng'akaloosa, bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa; kale nditukuzibwa mu mmwe mu maaso g'amawanga.
Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'erinnya lyange, si ng'amakubo gammwe amabi bwe gali, so si ng'ebikolwa byammwe ebikyamu bwe biri, ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.