era osingiddwa olw’omusaayi gw’oyiye era weeyonoonyesezza olwa bakatonda abalala be weekolera. Ennaku zo ozikomekkerezza, enkomerero ye myaka gyo etuuse. Kyendiva nkuswaza eri amawanga, n’ofuuka eky’okusekererwa eri ensi zonna.
Mu mmwe mulimu omusajja akola ebibi eby’obwenzi ne muka muliraanwa we, omulala n’ayonoonyesa muka mwana mu buswavu, ate omulala n’akwata mwannyina muwala wa kitaawe.
Mu mmwe mulimu abantu abalya enguzi okuyiwa omusaayi, ne basolooza amagoba agasukkiridde ne bafuna ekisukkiridde okuva ku baliraanwa baabwe mu ngeri ey’obukumpanya, era munneerabidde, bw’ayogera Mukama Katonda.
“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri efuuse amasengere gye ndi; bonna bali ng’ebikomo, masasi, n’ebyuma ebisigalira wansi mu kikoomi ky’ekyokero. Bali ng’amasengere ga ffeeza.
Era ng’effeeza bw’esaanuusibwa mu kyokero, nammwe bwe mutyo bwe mulisaanuusibwa munda mu kyo, era mulimanya nga Nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.’ ”
Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange era boonoonye ebintu byange ebitukuvu; tebaawuddeemu bitukuvu na bya bulijjo; bayigiriza nti tewali njawulo wakati wa bitali birongoofu n’ebirongoofu, so tebassaayo mwoyo okukuuma Ssabbiiti zange, ne banswaza Nze mu bo.