×

Luganda Bible 2003

Ezeekyeri 24

1
Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'ekkumi, mu mwaka ogw'omwenda nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, wandiika olunaku lw'omwezi olw'olwaleero, kubanga luno lwe lunaku kabaka wa Babilooniya lw'atandikiddeko okuzingiza Yerusaalemu.
3
Gerera ab'eggwanga eryo ejjeemu olugero, obagambe nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Teeka sseffuliya ku kyoto, giteekeko ogifukemu amazzi.
4
Giteekemu ebifi by'ennyama buli kifi ekirungi: ekisambi n'omukono. Gijjuze amagumba agasinga obulungi.
5
Kwata mu ggana oggyemu eyo esingamu obulungi, oteekemu enku wansi, ofumbe bulungi byesere, ennyama n'amagumba biggye.’ ”
6
Mukama Afugabyonna, kyava agamba nti: “Ekibuga ekitemu zikisanze! Kiri nga sseffuliya erimu obutalagge, ng'obutalagge bwayo tebugivaamu. Gitoolemu kifi ku kifi, awatali kweroboza,
7
kubanga waaliwo obutemu mu kyo. Naye omusaayi tekyaguyiwa ku ttaka kubikkibwako nfuufu. Kyaguteeka ku lwazi olwereere.
8
Omusaayi ogwo ngutadde ku lwazi olwereere guleme okubikkibwako, gusitule obusungu bwange okuwoolera eggwanga.”
9
Mukama Afugabyonna kyava agamba nti: “Zikusanze ggwe ekibuga ekitemu. Nange nzennyini ndikola entuumu ennene ey'enku.
10
Yongerako enku nnyingi, okumemu omuliro. Teekamu ebirungo. Fumba okalize amazzi, ebifi bisiriire.
11
Sseffuliya enkalu giteeke ku manda ebugume, ekikomo kyayo kyengerere, obujama bwayo busaanuukire mu kyo, obutalagge bwayo buggweewo.
12
Wadde nga kikooya, kitawaanyiza bwereere: obutalagge bwakyo obungi tebukivaamu. Obutalagge bwakyo tebukivaamu na muliro.
13
Obukaba bwo, Yerusaalemu bukwonoonye. Wadde nafuba nkulongoose, naye tewalongooka. Toliddamu kulongooka okutuusa lwe ndikumalirako ekiruyi kyange.
14
Nze Mukama njogedde. Ekiseera kirituuka, ne nkola. Siridda mabega, sirisonyiwa, era sirikwatibwa kisa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku mpisa zo, ne ku bikolwa byo.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
15
Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
16
“Ggwe omuntu, laba, nja kukuggyako mbagirawo, oyo gw'otunulako n'osanyuka. Naye tojja kukungubaga wadde okukulukusa amaziga.
17
Sindira muli kasirise. Tokungubagira afudde. Weesibe ekiremba kyo ku mutwe, onaanike engatto mu bigere. Teweebikka ku maaso, era tolya ku mmere ya bakungubazi.”
18
Awo ne njogera n'abantu mu budde obw'enkya. Ku olwo akawungeezi, mukazi wange n'afa. Ku lunaku olwaddirira, ne nkola nga Mukama bwe yandagidde.
19
Abantu ne ba mbuuza nti: “Tubuulire obubaka obutukwatako, obuli mu ebyo by'okola.”
20
Awo ne mbagamba nti: “Mukama yayogedde nange, n'aŋŋamba
21
okubagamba mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli nti: Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndyonoona Ekifo kyange Ekitukuvu ekibaleetera okwemanya bwe muli ab'amaanyi, era kye mwegomba okutunulako ne kibatwala omutima. Era batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka mu Yerusaalemu, balittirwa mu lutalo.
22
Olwo nammwe mulikola nga nze bwe nkoze: temulibikka ku mitwe gyammwe, era temulirya ku mmere ya bakungubazi.
23
Ebiremba byammwe birisigala ku mitwe gyammwe, n'engatto zammwe zirisigala mu bigere byammwe. Temulikungubaga era temulikaaba maziga, naye mulikogga olw'ebibi byammwe, buli muntu asindire munne ennaku.
24
Kale Ezeekyeli aliba akabonero akabalabula mmwe: byonna by'akoze nammwe bye mulikola. Ekyo bwe kirituukirira, kale mulitegeera nga Nze Mukama Afugabyonna.’ ”
25
Mukama n'aŋŋamba nti: “Kale ggwe omuntu, ku lunaku olwo ndibaggyako ekyo ekibaleetera okwemanya bwe bali ab'amaanyi, ekibasanyusa, ekibeewaanya, kye beegomba okutunulako era ekibatwala omutima. Era ndibaggyako batabani baabwe ne bawala baabwe.
26
Ku lunaku olwo oyo aliba awonyeewo alijja gy'oli okukikutegeeza.
27
Ku lunaku olwo, olulimi lwo lulisumulukuka n'osobola okuddamu okwogera n'oyo aliba awonyeewo. Bw'otyo bw'oliba akabonero akalabula abantu abo, era balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes