“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti, ‘Ndi katonda, era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’ songa oli muntu buntu, so si katonda, newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
Mu bikolwa byo ebingi, wajjula empisa embi, era n’okola ebibi. Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda, mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga okuva mu mayinja ag’omuliro.
Omutima gwo gwalina amalala olw’obulungi bwo, ne weelimbalimba olw’ekitiibwa kyo. Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo oyonoonye ebifo byo ebitukuvu. Kyenava nziggya omuliro mu ggwe ne gukusaanyaawo, ne nkufuula evvu ku nsi wakati mu abo bonna abaakulabanga.
oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni, era ndyegulumiza mu ggwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimubonereza, ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa omusaayi mu nguudo ze. Abafu baligwa wakati mu ye, ekitala kimulumbe enjuuyi zonna. Olwo balimanya nga nze Mukama.
“ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo.