yogera ogambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, Falaawo kabaka w’e Misiri, ogusota ogunene ogugalamira wakati mu migga gyagwo, ogwogedde nti Omugga gwange, gwange, era ngwekoledde nzekka.
Era nditeeka amalobo mu mba zo, n'ebyennyanja eby'omu migga gyo ndibikwataganya n'amagamba go; era ndikulinnyisa okukuggya wakati mu migga gyo, wamu n'ebyennyanja byonna eby'omu migga gyo ebikwatagana n'amagamba go.
Kale, laba, nze ndi mulabe wo, era ndi mulabe w'emigga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere n'amatongo, okuva ku kigo eky'e Sevene okutuuka ne ku nsalo ey'e Buwesiyopya.
Era ndifuula ensi y'e Misiri amatongo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo mu bibuga ebizisibwa biriba matongo emyaka amakumi ana: era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.
So tebuliba nate bwesige bwa nnyumba ya Isiraeri, nga bujjukiza obutali butuukirivu, bwe bakebuka okubatunuulira; kale balimanya nga nze Mukama Katonda.
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti