×

Luganda Bible 2003

Ezeekyeri 29

1
Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogw'ekkumi, mu mwaka ogw'ekkumi nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, yolekeza amaaso go Kabaka w'e Misiri, olange eby'akabi ebirimutuukako, n'ebirituuka ku Misiri yonna.
3
Yogera omutegeeze, Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Ndi mulabe wo ggwe Kabaka wa Misiri, ggwe gugoonya ogunene, ogugalamira mu ngezi y'amazzi, n'ogamba nti: Omugga Kiyira gwange, era nze nagwekolera!’ “Nga bwe wagamba nti: Omugga Kiyira gugwo era ggwe wagukola,
4
nditeeka amalobo mu mba zo, ne ndeetera ebyennyanja eby'omu mugga gwo okukwatira ku magamba go, ndyoke nkusikeyo mu mugga gwo wamu n'ebyennyanja byonna ebikwatidde ku ggwe.
5
Ndikuleka ng'osuuliddwa mu ddungu ggwe, n'ebyennyanja ebyo eby'omu mugga gwo. Oligwa ku ttale ebweru, ne wataba akuggyawo wadde akuziika. Nkuwaddeyo oliibwe ensolo ez'oku ttale, n'ebinyonyi ebibuuka mu bbanga.
6
Kale abantu bonna abali mu Misiri balimanya nga nze Mukama, kubanga mmwe Abamisiri, Abayisirayeli baabeesiga, naye ne mubabeerera ng'omuggo ogw'olumuli.
7
Bwe baabakwata okubeesimbaggirizaako, mwamenyeka, ne mubafumita mu nkwawa zaabwe. Bwe baabeesigamako, mwamenyeka, ne muleetera emigongo gyabwe okwekaaka.
8
Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva nkugamba ggwe Misiri, nti ndireeta ab'ebitala ne bakulumba, ne batta mu ggwe abantu n'ensolo.
9
Ensi y'e Misiri erisigala matongo ng'ezise. Olwo balimanya nga Nze Mukama.
10
Kale ndi mulabe wo, era ndi mulabe wa migga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere era amatongo, okuva e Migidooli okutuuka e Siyeene, n'okutuuka ku nsalo ne Etiyopiya.
11
Tewaliba kigere kya muntu wadde eky'ensolo ekiriyitamu. Teribeerebwamu okumala emyaka amakumi ana.
12
Ensi y'e Misiri ndigifuula amatongo n'okusinga ensi endala zonna ezaali zifuuse amatongo. N'ebibuga byayo birimala emyaka amakumi ana nga bizisiddwa okusinga ebirala byonna ebyali bifuuliddwa amatongo. Abamisiri ndibasaasaanya mu mawanga mangi ku nsi, ne banoonya obubudamo mu nsi nnyingi.”
13
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Emyaka amakumi ana bwe giriyitawo, ndikuŋŋaanya Abamisiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa.
14
Ndikomyawo Abamisiri nga bava mu buwaŋŋanguse, ne mbazza mu nsi y'e Paturoosi, ensi mwe baazaalirwa, babeere eyo, nga bafuuse bwakabaka obunafu.
15
Baliba obwakabaka obusingirayo ddala okuba obunafu, obutaliddayo kwekulumbaliza ku mawanga malala. Ndikendeeza omuwendo gwabwe, ne bataddayo kufuga mawanga malala.
16
Eggwanga lya Yisirayeli teririddayo kubeesiga kuliwa buyambi. Ebituuse ku Misiri binajjukizanga Yisirayeli nga kyali kikyamu okubeesiganga. Olwo Abayisirayeli balimanya nga Nze Mukama Afugabyonna.”
17
Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye, mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
18
“Ggwe omuntu, Kabaka Nebukadunezzari owa Babilooniya yasitula eggye lye ery'amaanyi okulwanyisa Tiiro. N'atikka abaserikale be emigugu emizito, buli mutwe ne gukutuka ekiwalaata, na buli kibegabega ne kinuubuka, kyokka ye, wadde abaserikale be, tebalina kye baaganyulwa mu kulumba Tiiro.
19
Kale kaakano Nze Mukama Afugabyonna kino kye ŋŋamba nti Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya, ndimuwa ensi y'e Misiri. Alinyaga nnamunkukumbo w'obugagga, n'atwala omunyago nga ye mpeera y'abaserikale be.
20
Mmuwadde ensi y'e Misiri ebe empeera ye gye yatabaalira, kubanga eggye lye lyakolera nze. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.
21
“Ekyo bwe kirituukirira, Abayisirayeli ndibafuula ba maanyi, era ndikuleka ggwe Ezeekyeli, n'oyogerera buli muntu w'ayinza okukuwulirira. Olwo balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes