×

Luganda Bible 2003

Ezeekyeri 3

1
Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, lya ekyo ky'olaba, lya omuzingo gw'ekitabo guno, bw'omala, ogende oyogere n'ab'Eggwanga lya Yisirayeli.”
2
Awo ne njasamya akamwa kange, n'andiisa omuzingo gw'ekitabo ogwo.
3
N'aŋŋamba nti: “Gwe omuntu, lya ojjuze olubuto lwo omuzingo gw'ekitabo guno gwe nkuwa, okkute.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki mu kamwa kange.
4
Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, genda eri ab'Eggwanga lya Yisirayeli, obategeeze bye njagala okubagamba.
5
Totumiddwa eri eggwanga erikozesa enjogera gy'otomanyi oba olulimi oluzibu, wabula eri ab'eggwanga lya Yisirayeli.
6
Singa nkutumye mu b'amawanga amangi, ab'enjogera gy'otamanyi era ab'ennimi enzibu, bo bandiwulirizza by'ogamba.
7
Naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli, tebajja kuwuliriza by'obagamba, kubanga tebaagala kuwuliriza nze bye mbagamba. Ab'Eggwanga lya Yisirayeli lyonna ba mputtu, era bakakanyavu.
8
Kaakano naawe nkufudde mukakanyavu nga bo, lw'onoobasobola, ng'okolagana nabo.
9
Nkufudde mugumu nga jjinja ery'embaalebaale. Tobatyanga, era totiisibwatiisibwanga bajeemu abo.”
10
Era n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ssaayo omwoyo ku byonna bye ŋŋenda okukutegeeza, era obigondere.
11
Era genda eri ab'eggwanga lyo abali mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo, obabuulire bye njagala okubategeeza, oba nga banaabiwuliriza, oba nga banaagaana okubiwuliriza.”
12
Awo Mwoyo n'ansitula, era ne mpulira emabega wange eddoboozi ery'omwanguka ennyo, erigamba nti: “Ekitiibwa kya Mukama kitenderezebwe mu ggulu.”
13
Awo ne mpulira eddoboozi ly'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikubaganako, n'okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo, n'okuwuluguma okungi ng'okw'okukankana kw'ensi.
14
Mwoyo n'ansitula n'antwala, ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'obusungu. Amaanyi ga Mukama ne ganfuga.
15
Ne ndyoka nzija e Telabiibu, ku mabbali g'Omugga Kebari awaali abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse, ne mbeera awo mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde olw'ebyo bye nalaba ne bye nawulira.
16
Ennaku omusanvu bwe zaayitawo, Mukama n'ayogera nange. N'aŋŋamba nti:
17
“Ggwe omuntu, nkufudde omukuumi w'ab'Eggwamga lya Yisirayeli. Kale wuliranga bye ŋŋamba, obatuuseeko bye mbagamba nga mbalabula.
18
Bwe ŋŋamba omuntu omubi nti: ‘Mazima oli wa kufa,’ naye ggwe n'otomulabula kuva mu bibi bye asobole okuwonya obulamu bwe, talirema kufiira mu bibi bye. Naye okufa kwe, ndikuvunaana ggwe.
19
Kyokka bw'olabula omubi, ye n'atakyuka kuleka bibi bye, wadde okuva mu mpisa ze embi, alifiira mu bibi bye, naye ggwe obulamu obubwo oliba obuwonyezza.
20
“Ate omuntu omulungi bw'akyuka n'ava mu bulungi bwe n'akola ebibi, nange ne mmuleka mu kizibu ekyo n'agwa, alifa. Bw'oliba tomulabudde, alifiira mu bibi bye, n'ebikolwa bye ebirungi bye yakola, tebirijjukirwa. Naye okufa kwe, ndikuvunaana ggwe.
21
Kyokka bw'olabula omuntu omulungi, aleme kukola kibi, n'alabuka n'atakikola, mazima aliba mulamu, era naawe oliba owonyezza obulamu bwo.”
22
Awo ne mpulira mu nze ng'amaanyi ga Mukama gankutteko, n'aŋŋamba nti: “Situka ogende mu lusenyi, eyo gye ndyogerera naawe.”
23
Ne nsituka, ne ŋŋenda mu lusenyi. Ne ndabirayo ekitiibwa kya Mukama, nga bwe nali nkirabidde ku lubalama lw'Omugga Kebari. Ne ngwa ku ttaka nga nneevuunise.
24
Mwoyo n'annyingiramu, n'annyimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Genda weggalire mu nnyumba yo.
25
Laba, ggwe omuntu, ojja kuteekebwako emiguwa, bagikusibise, oleme kufuluma mu bo.
26
Nja kusannyalaza olulimi lwo, lukwatire ku kibuno kyo, okwogera kukuleme, oleme okulabula abantu abo abajeemu.
27
Naye bwe nnaayogera naawe, nja kusumulula olulimi lwo, osobole okwogera, obagambe nti: ‘Mukama, Katonda agamba nti ayagala okuwulira awulire, atayagala kuwulira alekeyo,’ kubanga ab'eggwanga lino, bajeemu.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes