|
| 1 |
|
| Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, |
|
| 2 |
|
| “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Mwekaabireko mwogere nti, “Zibasanze ku lunaku olwo” |
|
| 3 |
|
| kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku olw’ebire eri bannaggwanga. |
|
| 4 |
|
| Ekitala kirirumba Misiri, n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya. Bwe balifiira mu Misiri, obugagga bwe bulitwalibwa n’emisingi gyayo girimenyebwa.’ |
|
| 5 |
|
| Obuwesiyopya, ne Puuti, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri. |
|
| 6 |
|
| “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “ ‘Abawagira Misiri baligwa, n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa. Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene baligwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda. |
|
| 7 |
|
| Balirekebwawo wakati mu nsi endala ezalekebwawo, n’ebibuga byabwe biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo. |
|
| 8 |
|
| Olwo balimanya nga nze Mukama bwe ndikuma ku Misiri omuliro, n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa. |
|
| 9 |
|
| “ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja. |
|
| 10 |
|
| “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni. |
|
| 11 |
|
| Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga, balireetebwa okuzikiriza ensi. Baligyayo ebitala byabwe ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo. |
|
| 12 |
|
| Ndikaza emigga gya Kiyira, ne ntunda ensi eri abantu ababi; nga nkozesa bannaggwanga, ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu. Nze Mukama nkyogedde. |
|
| 13 |
|
| “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu. Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate, era ensi yonna ndigireetako entiisa. |
|
| 14 |
|
| Ndifuula Pasulo okuba amatongo, ne Zowani ndikikumako omuliro ne mbonereza n’ab’omu No. |
|
| 15 |
|
| Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri eky’amaanyi, era ndimalawo n’ebibinja bya No. |
|
| 16 |
|
| Ndikuma omuliro ku Misiri, ne Sini baliba mu bubalagaze bungi, ne No balitwalibwa omuyaga, ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera. |
|
| 17 |
|
| Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi baligwa n’ekitala, n’ebibuga biriwambibwa. |
|
| 18 |
|
| Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana, bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri, era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu. Alibikkibwa n’ebire era n’ebyalo bye biriwambibwa. |
|
| 19 |
|
| Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, bategeere nga nze Mukama.’ ” |
|
| 20 |
|
| Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, |
|
| 21 |
|
| “Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. |
|
| 22 |
|
| Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. |
|
| 23 |
|
| Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. |
|
| 24 |
|
| Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. |
|
| 25 |
|
| Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. |
|
| 26 |
|
| Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.” |
|
|
|
|