Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
Era ndikuleka ku lukalu ne nkusuula ku ttale ebweru, ne nkugwisaako ennyonyi zonna ez'omu bbanga, naawe ndikukkusa ensolo ez'omu nsi zonna bwe zenkana.
Awo bwe ndikumalawo, ndibikka ku ggulu ne nfuula emmunyeenye zaamu okubaako ekizikiza; era ndibikka ekire ku njuba, so n'omwezi tegulireeta kwaka kwagwo.
Ndigwisa olufulube lwo n'ebitala eby'ab'amaanyi; bonna ba ntiisa ba mu mawanga: era balinyaga amalala ga Misiri, n'olufulube lwayo lwonna lulizikirizibwa.
Bwe ndirekesaawo ensi y'e Misiri ne ngizisa, ensi eteriimu ebyo bye yajjulanga, bwe ndifumita abo bonna abalimu, kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama.
Bamusimbidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa wamu n'olufulube lwe lwonna amalaalo ge gamwetoolodde: bantu si bakomole, abattiddwa n'ekitala kubanga entiisa yaabwe yaleetebwa nga mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya: ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa.
So tebaligalamira wamu n'ab'amaanyi abagudde ku batali bakomole, abasse mu magombe nga balina ebyokulwanyisa byabwe n'ebitala byabwe nga biteekeddwa ku mitwe gyabwe, n'obutali butuukirivu bwabwe buli ku magumba gaabwe; kubanga baabanga ntiisa eri ab'amaanyi mu nsi ey'abalamu.
Kubanga ntadde entiisa ye mu nsi ey'abalamu: era aliteekebwa wakati mu batali bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ye Falaawo n'olufulube lwe lwonna, bw'ayogera Mukama Katonda.