Omwana w'omuntu, yogera n'abaana b'abantu bo obagambe nti Bwe ndeetanga ekitala ku nsi, abantu ab'omu nsi bwe baggyanga omusajja wakati mu bo ne bamuteekawo okuba omukuumi waabwe:
Naye omukuumi bw'alabanga ekitala nga kijja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, ekitala ne kijja, ne kiggya mu bo omuntu yenna; kale ng'aggiddwawo mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gw'omukuumi.
Naawe, omwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Isiraeri nti Mwogera bwe muti nti Okusobya kwaffe n'okwonoona kwaffe kuli ku ffe, era tuyongoberera mu kwo; kale twandibadde tutya abalamu?
Bagambe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu: mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa, ai ennyumba ya Isiraeri?
Naawe, omwana w'omuntu, gamba abaana b'abantu bo nti Obutuukirivu obw'omutuukirivu tebulimuwonyeza ku lunaku olw'okusobya kwe; n'obubi obw'omubi tebulimugwisa ku lunaku lw'akyuka okuleka obubi bwe: so n'oyo alina obutuukirivu taliyinza kuba mulamu olw'obwo ku lunaku lw'ayonoona.
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'okusibibwa kwaffe, mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano omu eyali awonye mu Yerusaalemi n'ajja gye ndi ng'ayogera nti Ekibuga kikubiddwa.
Awo omukono gwa Mukama gwali nga gubadde ku nze akawungeezi, ye awonye nga tannajja; era yali ayasamizza akamwa kange okutuusa lwe yajja gye ndi enkya; akamwa kange ne kayasama, ne ssiba kasiru nate.
Kale obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mulya ekirimu omusaayi, ne muyimusa amaaso gammwe eri ebifaananyi byammwe ne muyiwa omusaayi, era mulirya ensi?
Bw'oti bw'oba obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bifo ebyazika baligwa n'ekitala, n'oyo ali mu ttale ebweru ndimuwaayo eri ensolo okuliibwa, n'abo abali mu bigo ne mu mpuku balifa kawumpuli.
Naawe, omwana w'omuntu, abaana b'abantu bo bakwogerako awali ebisaakaate ne mu miryango egy'ennyumba, ne bagambagana, buli muntu ng'agamba muganda we nti Mujje, mbeegayiridde, muwulire ekigambo ekivudde eri Mukama.