Eteyinza temugissangamu maanyi; so temuwonyanga erwadde, so temusibanga emenyese, so temukomyangawo egobeddwa, so temunoonyanga ebuze; naye mwazifuganga n'amaanyi n'amawaggali.
Endiga zange zaabulubuutira ku nsozi zonna ne ku buli kasozi akawanvu: weewaawo, endiga zange zaasaasaanira ku maaso g'ensi yonna; so tewali eyazinoonya newakubadde okuzibuuliriza.
bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n'abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba ekyokulya eri bo.
Ng'omusumba bw'abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziwonya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire olw'ekizikiza.
Era ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo; era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri ku lubalama lw'ensalosalo z'amazzi ne mu bifo byonna ebibeerwamu eby'ensi.
Ndiziriisa omuddo omulungi, era ku nsozi ez'entikko ya Isiraeri kwe kuliba ekisibo kyabwe: eyo gye zirigalamira mu kisibo ekirungi, ne ziriira omuddo omugimu ku nsozi za Isiraeri.
N'omuti ogw'omu ttale gulibala ebibala byagwo, n'ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya; kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga mmaze okumenya ebisiba eby'ekikoligo kyabwe, era nga mbawonnyezza mu mukono gw'abo abaabafuula abaddu.