×

Luganda Bible 2003

Ezeekyeri 34

1
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, langa eby'akabi ebirituuka ku bakulembeze ba Yisirayeli, obategeeze, Nze Mukama Afugabyonna, kye mbagamba nti: Zibasanze mmwe abasumba ba Yisirayeli, abeeriisa mwekka, ne mutaliisa ndiga.
3
Munywa amata gaazo, ne mwambala engoye ezikolebwa mu byoya byazo, ne mutta ezisingamu obusava, ne mulya, naye nga temuzirabirira.
4
Ennafu temuzirabiridde ziddemu maanyi, endwadde temuzijjanjabye ziwone, ezimenyese temuzisibye wamenyese ziyunge, temukomezzaawo ezo eziwabye, wadde okunoonya eyo ebuze. Naye muzifugisa maanyi na bukambwe,
5
ne zisaasaana olw'obutabaako musumba, ebisolo eby'omu ttale ne bizitta, ne bizeeriira.
6
Endiga zange ne zibungeetera ku nsozi zonna, ne ku buli kasozi akawanvu. Ddala zaasaasaanira mu nsi yonna, ne watabaawo azinoonya, wadde azibuuliriza gye ziraze.
7
“Kale mmwe abasumba, muwulire Nze Mukama kye mbagamba.
8
Nze Mukama Afugabyonna, ndayira nti nga bwe ndi omulamu, musaanye muwulire bye ŋŋamba. Endiga zange zaafuuka muyiggo, era zaafuuka mmere ya buli kisolo kikambwe eky'omu ttale, olw'obutabaako musumba. Abasumba be naziteekako, tebazinoonya, naye beefaako bokka ne batalabirira ndiga zange.
9
Kale mmwe abasumba, muwulire Nze Mukama kye ŋŋamba.
10
Nze Mukama Afugabyonna, nnangirira nti ndi mulabe wammwe, mmwe abasumba. Nja kubaggyako endiga zange, muleme kwongera kukola gwa kuzirabirira, era muleme kuddamu kwerabirira mwekka. Ndiwonya endiga zange, ne mutazikavvula nga muzifuula ekyokulya kyammwe.”
11
“Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne mbuuliriza gye ziri.
12
Ng'omusumba bw'abuuliriza ku ggana lye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, nange bwe ntyo bwe ndibuuliriza ku ndiga zange, era ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire n'ekizikiza.
13
Ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi eyaazo. Ndiziriisiza ku nsozi z'omu Yisirayeli, ne ku mbalama z'emigga, ne mu bifo byonna eby'omu nsi eyo ebibeeramu abantu.
14
Ndiziriisiza mu malundiro amalungi, ku nsozi empanvu ez'omu Yisirayeli. Mu malundiro ago amalungi mwe zirigalamira, ne ziriira mu malundiro g'omu Yisirayeli ag'omuddo omugimu.
15
Nze nzennyini nze ndiriisa endiga zange, ne nzizuulira ekifo we ziwummulira. Nze Mukama Afugabyonna njogedde.
16
“Ndinoonya ezo ezibuze, ne nkomyawo ezo eziwabye, ne nsiba ezo ezimenyese, ne nzijanjaba ezo ezirwadde. Naye ezo ensava era ez'amaanyi, ndizikuuma, era ne nziriisa mu bwenkanya.
17
“Kale mmwe eggana lyange Abayisirayeli, Nze Mukama Afugabyonna, mbagamba nti ndisala omusango ogwa buli omu ku mmwe. Mmwe endiga ennume n'embuzi ennume,
18
temumatira okulya omuddo omulungi naye mussaako n'okulinnyirira ogwo gwe mutalidde. Bwe mumala okunywa amazzi amayonjo, musiikuula ago agasigaddewo,
19
endiga zange endala ne zirya omuddo gwe mulinnyiridde, ne zinywa amazzi ago, ge musiikuudde n'ebigere byammwe.
20
“Kale kaakano, Nze Mukama Afugabyonna, mbagamba nti nze nzennyini ndisala omusango wakati w'endiga engevvu n'enkovvu,
21
kubanga musindisa embiriizi n'ebibegabega ezo endwadde, ne muzitomeza amayembe gammwe, okutuusa lwe muzigoba mu ggana.
22
N'olwekyo nditaasa endiga zange, ne zitayigganyizibwa. Ndisala omusango ogwa buli emu.
23
Ndiziteerawo omusumba omu ali ng'omuweereza wange Dawudi. Oyo ye alizirunda, n'aba omusumba waazo.
24
Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuweereza wange, ali nga Dawudi, n'aba omukulembeze waabwe. Nze Mukama, njogedde.
25
Era ndikola nabo endagaano ey'emirembe. Ndimalawo mu nsi eyo ensolo enkambwe, endiga zange zisobolenga okubeera mu ttale, era n'okwebaka mu bibira nga tezirina kye zitya.
26
“Ndibawa omukisa, era ne babeeranga mu bifo ebyetoolodde olusozi lwange olutukuvu. Nnaabatonnyesezanga enkuba ennungi mu biseera byayo mwe bagyetaagira.
27
Emiti ginaabalanga ebibala, n'ennimiro zinaayezanga ebirime, era n'abantu banaabeeranga mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya. Bwe ndimala okukutula enjegere ezisibye abantu bange, ne mbawonya abo ababafuga obuddu, olwo balimanya nga Nze Mukama.
28
Ab'amawanga amalala tebaliyongera kubayigganya, n'ensolo enkambwe ez'omu nsi eyo teziribakavvula. Balibeera mirembe nga tewali abatiisa.
29
Ndibagimusiza ennimiro zaabwe, ne mmalawo enjala mu nsi eyo. Ab'amawanga amalala tebaliddamu kubasekerera.
30
Balimanya nga nze, Mukama Katonda waabwe, ndi wamu nabo, era nga bo, ab'Eggwanga lya Yisirayeli, be bantu bange. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.
31
“Mmwe endiga zange, eggana lye ndiisa, muli bantu bange, nze ndi Katonda wammwe,” Mukama Katonda bw'atyo bw'agamba.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes