Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.
Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, olw’endiga zange okufuuka omuyiggo, n’ekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era n’abasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange,
Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi n’enzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi.
Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko z’ensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri.
Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ez’amaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya.
Tekibamala okulya omuddo? Kale ate lwaki mulinnyirira ogusigaddewo mu ddundiro, nga n’okunywa mwanywa amazzi amayonjo, naye ne musiikuula agaasigalawo n’ebigere byammwe!
“ ‘Ndikola endagaano yange ezisuubiza emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, zibeerenga mu ddungu era zeebakenga mu bibira mirembe nga tezirumbibwa.