BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Omukono gw'Omukama gwandiko, mu Mwoyo w'Omukama n'anfulumya, n'anzisa wakati mu kiwonvu ekyali kijjudde amagumba. |
| 2 |
| Yampisaayisaamu okuganneetoolooza wonna; gaali mangi nnyo ku ntobo y'ekiwonvu; gaali magumba makalu nnyo. |
| 3 |
| N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, olowooza gano amagumba gayinza okulamuka?” Ne nziramu nti: “Mukama wange, ggwe wekka gw'omanyi.” |
| 4 |
| N'aŋŋamba nti: “Langa eri amagumba gano ogagambe nti: ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo ky'Omukama. |
| 5 |
| Omukama Katonda kino ky'agamba amagumba gano: Ŋŋenda okubayingizaamu omukka mulamuke |
| 6 |
| Nzija kubassaako ebinywa; mbamezeeko ennyama, mbabikke n'olususu; nzija kussa mu mmwe omukka mulamuke, olwo mulimanya nti nze Mukama.’ ” |
| 7 |
| Ne nnanga nga bwe nali ndagiddwa. Mba nnanga, ne wabaawo eddoboozi, eddoboozi ery'okugolongotana, amagumba ne gayungagana, ggumba ku ggumba linnaalyo. |
| 8 |
| Mba nkyatunudde, ne kujjako ebinywa n'ennyama, n'olususu ne lubibikka; naye mu byo temwali mukka. |
| 9 |
| Awo n'aŋŋamba nti: “Langa eri omukka; langa, mwana w'omuntu nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Owange mukka, vva mu nsonda ennya, ofuuwe ku battibwa bano balamuke.’ ” |
| 10 |
| Ne nnanga nga bwe yali andagidde, omukka ne gubayingiramu, ne balamuka, ne bayimirira ku bigere byange, eggye eddene ennyo. |
| 11 |
| Awo n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, amagumba gano gonna ye nnyumba ya Yisirayeli. Bo bagamba nti: ‘Amagumba gaffe gaakala; tekyali ssuubi; twakutulwako.’ |
| 12 |
| Kale nno, langa obagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kwasamya amalaalo gammwe, mbaggyeyo mu ntaana zammwe, mmwe bantu bange; ndibakomyawo mu nsi ya Yisirayeli. |
| 13 |
| Olwo mmwe mulimanya nti nze Mukama, mmwe bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe, ne mbaggya mu ntaana zammwe. |
| 14 |
| Nzija kubassaamu Mwoyo wange mulamuke; nzija kubateeka mu nsi yammwe; olwo mulimanya nti nze Mukama nze njogedde, ate nkikoze, Omukama Katonda y'agamba.’ ” |
| 15 |
| Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti: |
| 16 |
| “Mwana w'omuntu, ddira omuggo ogw'omuti oguwandiikeko nti ‘gwa Yuda n'abantu ba Yisirayeli mikwano gye’. Oddire n'omuggo omulala ogw'omuti owandiikeko nti ‘omuggo gwa Efurayimu: gwa Yozefu n'ennyumba ya Yisirayeli mikwano gye’. |
| 17 |
| Emiggo gyombi giyunge ogumu ku gunnaagwo gifuuke omuggo gumu mu mikono gyo, olwo gibeere omuggo gumu. |
| 18 |
| Abantu b'eggwanga lyo bwe banaakubuuza nti: ‘Tootubuulire ky'oyagala kutegeeza na bino?’ |
| 19 |
| Onoobagamba nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kuddira omuggo gwa Yozefu, gwe muggo gwa Efurayimu n'abantu ba Yisirayeli mikwano gye, nguyunge ku muggo gwa Yuda, ngifuulemu omuggo gumu; girifuuka omuggo gumu mu mikono gyange.’ |
| 20 |
| “Emiggo gy'oliba owandiiseeko ng'ogikutte mu mikono gyo mu maaso gaabwe, |
| 21 |
| bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Abayisirayeli nzija kubakwata mbaggye mu mawanga gye baalaga. Nzija kubakuŋŋaanya eyo yonna, mbaleete mu nsi yaaboobwe. |
| 22 |
| Nzija kubafuulamu eggwanga limu mu nsi yaabwe ku nsozi za Yisirayeli; kabaka omu y'aliba afuga bonna; tebaliddayo kubeera mawanga abiri, yadde okwawulwamu obwakabaka obubiri. |
| 23 |
| Tebaliddayo kwegwagwawaza na bifaananyi byabwe ebya balubaale n'ebyenyinyalwa byabwe n'emisango gyabwe gyonna; nzija kubawonyaayo mu kuddirira kwabwe kwonna kwe baagwamu; nzija kubatukuza; balibeera bantu bange nange ndibeera Katonda waabwe. |
| 24 |
| Omuweereza wange Dawudi y'aliba kabaka waabwe; baliba n'omusumba omu bonna. Baligobereranga ebiragiro byange, n'amateeka gange baligakwatanga ne bagatuusa. |
| 25 |
| Balisula mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baasulanga; baligisulamu bo n'abaana baabwe ne bazzukulu baabwe emirembe gyonna, ne Dawudi omuweereza wange nga ye mulangira waabwe emirembe gyonna. |
| 26 |
| Ndikola nabo endagaano ey'eddembe; endagaano ey'olubeerera. Ndibatebenkeza ne mbawa okwala; ekifo kyange ekitukuvu nzija kukissa mu makkati gaabwe emirembe gyonna. |
| 27 |
| Ekisulo kyange kiribeera mu bo; ndibeera Katonda waabwe nabo balibeera bantu bange. |
| 28 |
| Olwo amawanga galimanya nti nze Mukama atukuza Yisirayeli, ekitukuvu kyange bwe kiribeera mu makkati gaabwe emirembe gyonna.’ ” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/ezekiel/037.mp3
48
37