era ndikuzzaayo, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndikufulumya n'eggye yo lyonna, embalaasi n'abasajja abeebagadde embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa ebyatuukirira, ekibiina ekinene, nga balina obugabo n'engabo, bonna nga bakutte ebitala:
Ennaku nnyingi nga ziyiseewo olijjirwa: mu myaka egy'enkomerero olireetebwa mu nsi ekomezebwawo okugiggya nu kitala, ekuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga amangi, ku nsozi za Isiraeri, ezaabanga ensiko etevaawo: naye eggibwa mu mawanga, era balituula nga tebaliiko kye batya, bonna.
kale olyogera nti Ndyambuka mu nsi ey'ebyalo ebitaliiko nkomera; ndigenda eri abo abeegolodde, abatuula nga tebaliiko kye batya, bonna nga babeerera awo awatali babbugwe so nga tebalina bisiba newakubadde enzigi:
Kale olijja ng'ova mu kifo kyo mu njuyi ez'obukiika obwa kkono ezikomererayo, ggwe n'amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, ekibiina kinene, era eggye ddene:
era olitabaala abantu bange Isiraeri, ng'ekire okubikka ku nsi; olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ndikutabaaza ensi yange, amawanga gakumanye, bwe nditukuzibwa mu ggwe, ai Googi, mu maaso gaabwe.
Era ndiwoza naye ne kawumpuli n'omusaayi; era ndimutonnyesaako ne ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye oluwandaggirize olwanjaala n'amayinja amanene ag'omuzira n'omuliro n'ekibiriiti.