1
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, amaaso go goolekeze Googi, omufuzi wa Roosi ne Meseki ne Tubali mu nsi y'e Magogi, olange eby'akabi ebirimutuukako.
3
Ogambe nti: Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ggwe Googi, omufuzi wa Roosi ne Meseki ne Tubali, nze ndi mulabe wo.’
4
Ndikukwata ku nkoona ne nkutunuza gye ndi, ne nteeka amalobo mu mba zo, ne nkuwalula, ggwe n'eggye lyo lyonna, embalaasi n'abasajja abazeebagala, bonna nga babagalidde bulungi ebyokulwanyisa, eggye eddene, nga balina obugabo obutono n'engabo ennene, era nga bonna bakutte ebitala.
5
Abaperusi, n'Abakuusi, n'Abapuuti, baliba wamu nabo, bonna nga balina engabo n'enkuufiira ez'ekyuma.
6
Abaserikale bonna abava mu nsi Gomeri ne Beti Tagaruma ewala mu bukiikakkono, n'abava mu mawanga amalala mangi, bonna baliba naawe.
7
“Weetegeke, obe nga weeteeseteese n'amagye go gonna agakukuŋŋaaniddeko, era obe omukuumi waago.
8
Ekiseera kiwanvu bwe kiriyitawo, olirambulwa. Bwe waliyitawo emyaka, olirumba ensi ya Yisirayeli eyakosebwa ennyo olutalo. Yalekebwa awo ng'efuuse matongo okumala ebbanga ggwanvu, naye kaakano, abantu baamu baakomezebwawo nga baggyibwa mu mawanga mangi, era babeera mirembe ku nsozi z'ensi yaabwe eyo nga tebalina kye batya.
9
Kale nno ggwe n'eggye lyo n'ab'amawanga amangi abali naawe, mulirumba nga kibuyaga, ne mubikka ensi eyo ng'ekire bwe kibikka.”
10
Mukama Afugabyonna agamba Googi nti: “Olunaku olwo bwe lulituuka, olifuna ebirowoozo ebibi, n'okola entegeka ez'enkwe.
11
Oligamba nti: ‘Nja kugenda nnumbe ensi erimu ebyalo ebitazimbiddwako bigo. Nja kulumba abo abateredde emirembe nga tebaliiko kabi ke beekengera, era nga tebalinaawo ntegeka yonna ey'okwerinda.’
12
Olinyaga ne weefunira omunyago, mu bifo ebyali birekeddwawo ne bizika, kaakano ebirimu abantu abaakuŋŋaanyizibwa ne baggyibwa mu mawanga, abafunye amagana, era ababeera wakati w'ensi yonna.
13
Abantu b'e Seeba ne Dedani, n'abasuubuzi b'e Tarusiisi n'ebifo byayo byonna, abasuubula ebingi, n'abasuubula ebitono, balikubuuza nti: ‘Ozze kunyaga munyago? Okuŋŋaanyizza eggye lyo, okole omuyiggo gwa munyago? Ojjiridde kufuna ffeeza na zaabu, na kutwala bintu na nsolo, oweze omunyago mungi?’
14
“Kale ggwe omuntu, langa ogambe Googi nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba nti: Ku lunaku olwo abantu bange Abayisirayeli bwe baliba batebenkedde mirembe, olimanya.
15
Oliva eyo gy'obeera ewala mu bukiikakkono, n'ojja n'eggye ddene era ery'amaanyi, ery'abaserikale abava mu mawanga amangi, bonna nga beebagadde embalaasi,
16
olumbe abantu bange Abayisirayeli ng'oli ng'ekire ekibisse ensi. Ekiseera bwe kirituuka, ndikutuma n'olumba ensi yange, amawanga galyoke gammanye, bwe galiraba bwe nkozesezza ggwe Googi okulaga bwe ndi Omutuukirivu.
17
Ggwe wuuyo gwe nayogerako edda, nga mpita mu baweereza bange abalanzi ba Yisirayeli, bwe baalanga okumala emyaka mingi nti ndikusindika okubalumba.’ ” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
18
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ku lunaku olwo Googi lw'alirumba ensi ya Yisirayeli, ndisuukiira olw'obusungu.
19
Nga nzijudde obuggya olw'abantu bange era n'obusungu obubuubuuka, nnangirira nti ku lunaku olwo, walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi mu nsi ya Yisirayeli.
20
Ebyennyanja eyo mu nnyanja n'ebinyonyi ebibuuka mu bbanga, n'ebisolo eby'omu ttale, n'ebintu byonna ebyewalula, ebyewalulira ku ttaka, n'abantu bonna abali ku nsi birikankanira wamu olw'okutya kubanga ntuuse. Ensozi zirisuulibwa wansi, n'ebifo eby'okubuserengeto birigwa, na buli kigo kirigwa ku ttaka.
21
Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti, ndiyita abakutte ebitala bave mu nsozi zange zonna, bajje balwanyise Googi oyo. N'abasajja b'omu ggye lye, balitemagana ebitala.
22
Ndikozesa kawumpuli n'okuyiwa omusaayi, mmubonereze. Era ndimuyiwako, ye n'eggye lye n'amawanga amangi agali naye, nnamutikkwa w'enkuba, omuli amayinja g'omuzira n'olunyata lw'omuliro, n'obuganga ng'obw'ebibiriiti.
23
Bwe ntyo ndiraga amawanga amangi bwe ndi oweekitiibwa era omutuukirivu. Olwo balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.