Ndikwetoolooza, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndibakulembera n’eggye lyo lyonna, n’embalaasi n’abeebagala embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa mu kibinja ekinene ekirina engabo ennene n’entono, nga bakutte n’ebitala.
era ne Gomeri n’eggye lye lyonna, n’ennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obw’ewala ddala n’eggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe.
Oluvannyuma olw’ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy’oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe.
Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene.
Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe?
Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako.