1
“Era, ggwe Omuntu, kwata ettoffaali, oliteeke mu maaso go, olikubeko ekifaananyi ky'Ekibuga Yerusaalemu.
2
Era okulaga okuzingizibwa kw'ekibuga ekyo, ekifaananyi kyakyo ekyo, kizimbeko ebigo, okituumireko ekifunvu, oteekewo ensiisira ez'okukirumba, okisimbeko eby'okutomera ebisenge byakyo enjuyi zonna.
3
Kwata olusaniya olw'ekyuma, oluteekewo okuba ekigo eky'ekyuma wakati wo n'ekibuga. Otunuulire ekibuga kibe nga kizingiziddwa, nga ggwe okizingizizza. Ako ke kanaaba akabonero akalabula Eggwanga lya Yisirayeli.
4
“Weebakire ku ludda lwo olwa kkono oluteekeko ebibi by'ab'Eggwanga lya Yisirayeli. Ennaku z'onoomala ng'olwebakiddeko, onoosasuliramu olw'ebibi byabwe.
5
Nkusalidde omuwendo gwa nnaku ebikumi bisatu mu kyenda, ogwenkana n'omuwendo gw'emyaka gye balimala nga babonerezebwa. Bw'otyo bw'onoomala ennaku ezo nga weetisse ebibi by'ab'Eggwanga lya Yisirayeli.
6
Bw'olimalako ennaku ezo, olyebakira ku ludda lwo olwa ddyo, oboneebone olw'ebibi by'ab'omu Buyudaaya, okumala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka ogw'ekibonerezo kyabwe.
7
“Simba amaaso go ku Yerusaalemu ekizingiziddwa, okigalulire ekikonde ky'okifunyidde, olange ebigenda okukituukako.
8
Nja kukusiba n'emiguwa, obe nga tosobola kwekyusa okwebakira ku ludda olulala, okutuusa ennaku z'olizingizibwa lwe ziriggwaako.
9
“Kaakano twala eŋŋaano, ne bbaale, n'ebijanjaalo, ne kawo, n'omuwemba, n'obulo, obitabule wamu, obifumbemu emmere ey'omugoyo, gy'onoolyanga mu nnaku ebikumi ebisatu mu ekyenda, z'olimala nga weebakidde ku ludda lwo olwa kkono.
10
Emmere gy'onoolyanga, ebenga mpime. Ebenga kimu kyakutaano ekya kilo olunaku, ng'ogiriira mu kiseera kye kimu buli lunaku.
11
N'amazzi onoonywanga mapime, ebitundu bibiri byakusatu ebya lita, ng'oganywera mu kiseera kye kimu buli lunaku.
12
Emmere onoolyanga nkalirire nga migaati gya bbaale, era onoogikaliriranga ku manda ga mpitambi ya bantu, ng'ogikalirira abantu balaba.”
13
Awo Mukama n'agamba nti: “Bwe batyo Abayisirayeli bwe banaalyanga emmere eteri nnongoofu, nga bali mu mawanga gye ndibasaasaanyiza.”
14
Awo ne ŋŋamba nti: “Woowe, Mukama, Katonda! Laba, nze sseeyonoonanga, kubanga okuviira ddala mu buto bwange n'okutuusa kati, siryanga ku nnyama ya nsolo efudde yokka, wadde etaaguddwa nsolo ginnaayo, era siryanga ku kintu ekiyitibwa eky'omuzizo.”
15
Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti: “Kale nkukkirizza okozese obusa bw'ente, mu kifo ky'empitambi y'abantu, obwo bw'oba ofumbisa emmere yo.”
16
Era n'ayongera okuŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ndikendeeza emmere mu Yerusaalemu. Banaalyanga mpime nga beeraliikirivu. N'amazzi banaanywanga magere bugezi, nga bennyamivu.
17
Balibulwa emmere n'amazzi, batunulaganeko nga basobeddwa, bayongobere olw'ebibi byabwe.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.