×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Ezeekyeri 4

1
“Kaakano, ggwe omwana w'omuntu, ddira ettoffaali, oliteeke mu maaso go, olikubeko ekifaananyi ky'ekibuga Yerusaalemi.
2
Ekifaananyi kizimbeko ebigo, okituumeko ekifunvu; era okiteekeko ensiisira okukyetooloola n'ebifunvu bye banaatomera enjuyi zonna.
3
Era ddira ekikalango eky'ekyuma okiteekewo okuba bbugwe ow'ekyuma wakati wo n'ekibuga. Okyuke okitunuulire, kibe nga kizingiziddwaako ke kanaaba akabonero akalabula ennyumba ya Isiraeri.”
4
“Era nate oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono, oluteekeko obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri. Ennaku zolimala ng'ogalamidde ku lubiriizi lwo, olyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
5
Ennaku z'olimala ziri bisatu mu kyenda (390), nga weetisse obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri: Zino zenkanankana n'omuwendo gw'emyaka gye balimala nga babonerezebwa.
6
Era nate bw'olimala ekyo, olyebakira ku ludda lwo olwa ddyo, okw'etikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku ana (40), buli lunaku mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe.
7
Olikyusa amaaso go n'otunulira Yerusaalemi ekizingiziddwa, okigalulire ekikonde ky'okifunyidde, okitegeeze ebigenda okukituukako.
8
Nja kukusiba n'emiguwa, obe nga tosobola kwekyusa okwebakira ku ludda olulala, okutuusa lw'olimala ennaku ez'okuzingiza kwo.”
9
“Era twala eŋŋaano, sayiri, ebijanjaalo, kawo, omuwemba n'obulo, obitabule wamu, obifumbemu emmere ey'omugoyo, gy'onoolyanga mu nnaku ebisatu mu ekyenda (390), z'olimala nga weebakidde ku ludda lwo olwa kkono.
10
N'emmere yo gy'onoolyanga eneepimibwanga, sekeri abiri (20) buli lunaku: onoogiriiranga mu kiseera kye kimu buli lunaku.
11
Era onoonywanga n'amazzi amapime, ekitundu ekya yini eky'omukaaga, onooganyweranga mu kiseera kye kimu buli lunaku.
12
Emmere onoolyanga nkalirire, nga migaati gya sayiri, era onoogikaliriranga ku manda ga mpitambi ya bantu, ng'ogikalirira abantu nga balaba.”
13
Awo Mukama n'agamba nti, “Era bwe batyo n'abaana ba Isiraeri bwe banaalyanga emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasaasaanyiza.”
14
Awo ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! laba nze sseeyonoonanga, kubanga okuviira ddala mu buto bwange n'okutuusa kati, siryanga ku nnyama ya nsolo efudde yokka, wadde etaaguddwa ensolo, era siryanga ku kintu ekiyitibwa eky'omuzizo.”
15
Awo n'alyoka aŋŋamba nti, “Kale nkukkirizza okozese obusa bw'ente, mu kifo ky'empitambi y'abantu, obwo bw'oba ofumbisa emmere yo.”
16
Era nate n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, laba, ndikendeeza emmere mu Yerusaalemi, kale banaalyanga emmere nga mpime nga beeraliikirira, era banaanywanga amazzi nga magere mu kutya.
17
Balibulwa emmere n'amazzi, batunulaganeko nga basobeddwa, baliyongobera olw'ebibi byabwe.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes