1
N'antwala ku Yeekaalu n'agera emifuubeeto, obugazi bwagyo emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi, bwe bwali obugazi bw'eweema.
2
N'awayingirirwa obugazi bwawo emikono kkumi (10); n'awayingirirwa embiriizi zaawo zaali emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi, n'agera obuwanvu bwawo emikono ana (40) n'obugazi emikono abiri (20).
3
Awo n'agenda munda n'agera buli mufuubeeto oguli awayingirirwa, emikono ebiri, n'awayingirirwa emikono mukaaga, n'awayingirirwa obugazi bwawo emikono musanvu.
4
N'agera obuwanvu bwawo emikono abiri (20), n'obugazi bwawo emikono abiri (20), mu maaso ga Yeekaalu, n'aŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekitukuvu ennyo.”
5
Awo n'agera ekisenge eky'ennyumba emikono mukaaga; na buli nju ey'omu mbiriizi obugazi bwayo emikono ena, okwetooloola ennyumba enjuyi zonna.
6
Ebisenge eby'ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu ku kinnaakyo ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge asatu (30), waliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng'empagi ezo teziyingira mu kisenge kya nnyumba.
7
Ebisenge eby'ebbali okwebungulula ennyumba byagendanga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako nga gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga gayita ku mwaliiro ogwa wakati.
8
Era ne ndaba ng'ennyumba yali ku kigulumu enjuyi zonna, emisingi gy'ebisenge eby'ebbali gyali olumuli olulamba olw'emikono emiwanvu mukaaga.
9
Obugazi bw'ekisenge ekyali kyebunguludde ebisenge eby'ebbali bwali emikono etaano. Waaliwo ekibangirizi wakati w'ebisenge eby'ebbali n'ekisenge ekyebunguludde ennyumba.
10
Okuva ku bisenge waliwo ekibangirizi kya bugazi obw'emikono abiri (20) okwetooloola ennyumba enjuyi zonna.
11
N'enzigi ez'okubisenge eby'ebbali zali zituunudde mu kibangirizi, oluggi olumu nga lutuunudde obukiikakkono n'oluggi olulala nga lutuunudde obukiikaddyo. Ekibangirizi ekyo obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna.
12
N'ennyumba eyali mu maaso g'ekifo ekyayawulibwa ku luuyi olw'ebugwanjuba obugazi bwayo bwali emikono nsanvu (70); n'ekisenge ky'ennyumba obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo emikono kyenda (90).
13
Awo bw'atyo n'agera ennyumba, obuwanvu bwayo emikono kikumi (100); n'ekifo ekyayawulibwa n'ennyumba n'ebisenge byayo, obuwanvu bwakyo emikono kikumi (100).
14
Era obwenyi bw'ennyumba obugazi bwabwo n'obw'ekifo ekyayawulibwa okwolekera obuvanjuba, emikono kikumi (100).
15
N'agera ennyumba obuwanvu bwayo okuva ku kifo ekyayawulibwa ekyali emmanju waayo n'embalaza zaayo eruuyi n'eruuyi, emikono kikumi (100); ne Yeekaalu ey'omunda n'ekisasi eky'omu luggya;
16
emiryango n'amadirisa agaazibibwa n'embalaza enjuyi zonna, okwolekera omulyango, byonna byabikkibwako embaawo, enjuyi zonna n'okuva ku ttaka okutuuka ku madirisa; era n'amadirisa gaabikkibwako;
17
n'okutuuka ku bbanga eryali waggulu w'oluggi, okutuuka ku nnyumba ey'omunda n'ebweru ne ku kisenge kyonna enjuyi zonna munda n'ebweru, okugerebwa kwabyo.
18
Era yakolebwa ne bakerubi n'enkindu; n'olukindu lwateekebwa wakati wa bakerubi kinnababirye, na buli kerubi yalina ebyenyi bibiri.
19
obwenyi bw'omuntu nga bwolekedde olukindu oluuyi olumu, n'obwenyi bw'empologoma nga bwolekedde olukindu oluuyi olulala. bwe bityo bwe byakolebwa okubuna ennyumba yonna enjuyi zonna.
20
Bakerubi n'enkindu byakolebwa okuva ku ttaka okutuuka waggulu w'oluggi; ekisenge kya Yeekaalu bwe kyali bwe kityo.
21
Yeekaalu emifuubeeto gyayo gyaliko empe nnya; n'obwenyi bw'awatukuvu enfaanana yaabwo yali ng'enfaanana eya Yeekaalu.
22
Ekyoto kyali kya miti, obugulumivu bwakyo emikono esatu n'obuwanvu bwakyo emikono ebiri; n'ensonda zaakyo n'obuwanvu bwakyo n'ebisenge byakyo byali bya miti: n'aŋŋamba nti, “Eno ye mmeeza eri mu maaso ga Mukama.”
23
Era Yeekaalu n'awatukuvu byalina enzigi bbiri.
24
N'enzigi zaali za mbaawo bbiri, embaawo bbiri ezeefunya; embaawo bbiri za luggi lumu, n'embaawo bbiri za luggi olwokubiri.
25
Era kwakolebwako, ku nzigi za Yeekaalu, bakerubi n'enkindu, ng'ebyakolebwa ku bisenge; era ku bwenyi bw'ekisasi ebweru kwaliko embaawo ez'emiti ez'omubiri omunene.
26
Era waaliwo amadirisa agaazibibwa n'enkindu eruuyi n'eruuyi, ku njuyi z'ekisasi, ebisenge eby'ebbali eby'omu nnyumba byalina embaawo ez'omubiri omunene.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.