Omulangira ye alituula omwo nga ye mulangira okuliiranga emmere mu maaso ga Mukama; aliyingira ng’afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo omwo mw'anaayitanga ng'avaamu.
Awo n'antwala mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono mu maaso g'ennyumba; ne ntunula, kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde ermyumba ya Mukama; ne nvuunama amaaso gange;
Awo Mukama n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, weetegereze nnyo, otunule n'amaaso go era owulire n'amatu go ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'amateeka gaayo gonna; era weetegereze nnyo awayingirirwa mu nnyumba na buli awafulumirwa mu watukuvu.
Era ogambanga abajeemu, ogambanga ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, emizizo gyammwe gyonna gibamale,
kubanga muyingizizza bannaggwanga abatali bakomole mu mutima era abatali bakomole mu mubiri, okubeera mu watukuvu wange, okwonoonawo, ennyumba yange, bwe muwaayo emmere yange, amasavu n'omusaayi, era bo bamenye endagaano yange, okwongera ku mizizo gyammwe gyonna.
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba munnaggwanga, atali mukomole mu mutima era atali mukomole mu mubiri, aliyingira mu watukuvu wange, munnaggwanga yenna anaabanga mu baana ba Isiraeri.
Era naye baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gy'ennyumba, era nga baweerereza mu nnyumba; abo be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka, eta banaayimiriranga mu maaso gaabwe okubaweereza.
Naye bakabona, Abaleevi, batabani ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baalagirwa, abaana ba Isiraeri bwe baawaba okunvaako, abo be balinsemberera okumpeereza; era banaayimiriranga mu maaso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n'omusaayi, bw'ayogera Mukama Katonda:
Awo bwe banaafulumanga mu luggya olw'ebweru, mu luggya olw'ebweru eri abantu, banaayambulanga ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu nju entukuvu, ne bambala ebyambalo ebirala, balemenga okutukuza abantu n'ebyanbalo byabwe.
So tebasembereranga mufu yenna okwegwagwawaza: naye olwa kitaabwe ba nnyaabwe oba mutabani waabwe oba muwala waabwe, olwa muganda waabwe oba mwannyinaabwe atabanga na bba, bayinza okweyonoona.
Awo ku lunaku lw'anayingiranga mu watukuvu, mu luggya olw'omunda, okuweerereza mu watukuvu, anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw'ekibi, bw'ayogera Mukama Katonda.