Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango n’aliira mu maaso ga Mukama, era nnaayingiranga ng’ayita mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo eryo mw’anaafulumiranga.”
Awo omusajja n’ankulembera ne tuyita mu kkubo ery’omulyango ogw’Obukiikakkono n’antwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.
Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye n’akugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya Mukama. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu n’awafulumirwa wonna aw’Awatukuvu.
Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga.
Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
“ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda.
Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe.
“ ‘Bwe wanaabangawo enkaayana, bakabona be banaabanga abalamuzi, okusalawo ng’ebiragiro byange bwe biri. Banaakumanga amateeka gange n’ebiragiro byange ku mbaga zange zonna ezaalagirwa, era banaakumanga Ssabbiiti zange nga ntukuvu.
“ ‘Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bw’anaabanga y’afudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga.