Era buli ekiriba eky'omulangira kiriba ku mabbali g'omugabo omutukuvu n'obutaka obw'ekibuga eruuyi n'eruuyi, mu maaso g'ekitone ekitukuvu ne mu maaso g'obutaka obw'ekibuga, ku luuyi olw'ebugwanjuba ebugwanjuba, ne ku luuyi olw'ebuvanjuba ebuvanjuba: n'obuwanvu nga kyenkana n'omugabo ogumu ku migabo okuva ku nsalo ey'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'ebuvanjuba.
Buliba butaka gy'ali mu nsi mu Isiraeri: so n'abalangira tebalijooga nate abantu bange; naye baliwa ennyumba ya Isiraeri ensi ng'ebika byabwe bwe biri.
Era omulangira ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'obutta n'ebiweebwayo ebyokunywa ku mbaga ne ku myezi egyakaboneka ne ku ssabbiiti, ku mbaga zonna ezaalagirwa ez'ennyumba ya Isiraeri: ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isiraeri.
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye oddiranga ente envubuka eteriiko bulema; n'olongoosa awatukuvu.
Ne kabona atoolenga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi n'aguteeka ku mifuubeeto gy'ennyumba ne ku nsonda ennya ez'omugo ogw'ekyoto ne ku mifuubeeto egy'oku mulyango ogw'oluggya olw'omunda.